Amawulire

Ssabasajja yenyamidde olw’ettemu

Ssabasajja yenyamidde olw’ettemu

Ali Mivule

August 3rd, 2015

No comments

Kabaka SadSsabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda 11 alaze obwenyamivu olw’ettemu erisusse naddala mu baana abato.

Bw’abadde aggulawo olukiiko lwa Buganda, omutanda agambye nti ettemu lino lireseewo okutya kungi eri abazadde era n’asaba abaami be ku byalo, abakulembeze abalala wamu ne poliisi okukwatiza awamu okulwanyisa ebikolwa bino.

Omutanda era agambye nti ebikolwa bino eby’ettemu bikontana n’enono wamu n’obuwangwa bwa Buganda.

Takomye awo Omutanda era avumiridde ebikolwa eby’okutwala abavubuka naddala abawala emitala w’amayanja okukola ng’abaddu.

Asabye abavubuka wamu n’abazadde okwewala okubuzabuuzibwa abo ababasuubiza okubasasula ensimbi enyingi emitala w’amayanja kubanga ensimbi zino teziriiyo.

Yye Minisita w’ebyobusubuzi n’amakolero Amelia Kyambadde asabye abavubuka okwettanira enteekateeka za gavumenti ezigendereddwamu okubajja mu bwavu, okusinga okuddukira emitala  w’amayanja.

Bw’abadde ayogera ku bubaka bya Ssabasajja ku bavubuka Amelia Kyambadde agambye nti gavumenti etereddewo abavubuka enteekateeka nyingi omuli n’ensimbi ez’okwewola, naye abasinga bagaanye okuzettanira nga balowooza nti okukuba ekyeeyo mwemuli ensimbi.

Amelia wabula ategeezezza nga minisitule ye bw’eri enetegefu okukolagana n’amawanga amalala naddala ag’abawalabu okulaba nga bannayuganda abagenda okukolerayo babeera mu mbeera eyeeyagaza.