Amawulire

Keetalo ka ssabassajja e Sese

Keetalo ka ssabassajja e Sese

Ali Mivule

July 28th, 2015

No comments

Abantu ba Ssabasajja Kabaka wa Buganda abawangalira ku bizinga bwe Ssese bali mu keetalo nga balindirira omutanda. Ssabasajja asuubirwa okusitula olunaku lw’okutaano  okwolekera Ssesse ku mikolo gy’okukuza amatikkira ag’omulundi gwa 22. Akulembeddemu okutegeka amatikkira gano era nga ye minisita wa Buganda ow’ebyenjigiriza Dr. Twaha Kawaase […]

Akabenje e Mityana- bataano balumiziddwa

Akabenje e Mityana- bataano balumiziddwa

Ali Mivule

July 28th, 2015

No comments

Abantu 5 bawereddwa ebitanda  mu ddwaliro e Mulago oluvanyuma lw’okusimattuka akabenje akabalese nga bamenyese. Bano bonna nga batuuze be Buwalula mu disitulikiti ye Mityana  bategerekeseeko amannya gaabwe nga Joseph Ssekitto,Henry Ssebandeke,Joseph Katalame,Frank Lubulwa n’omugoba w’ekimotoka ekyaakoze akabenje Wasswa Lutaaya. Kitegerekese nti ekimotoka ekyabadde kitisse amayinja […]

Eyayokya munne bamuwenja

Eyayokya munne bamuwenja

Ali Mivule

July 28th, 2015

No comments

Poliisi mu bitundu bye Kitintale  etandise omuyiggo gwakali butemu Jenifer Nekese eyayiira muggya we amafuta n’amukoleeza Omukyala ono etayokebwa yafa ssaabbiiti ewedde kyokka nga bassalumanya abalugenderamu bakyaali ddala bubi mu ddwaliro e Mulago. Abaalumizibwa nga bonna bakyali mu kifo awatekebwa abayi kuliko Rahmah Birabwa,Eddie Musoke, […]

Aba DP bakutuula

Aba DP bakutuula

Ali Mivule

July 28th, 2015

No comments

Abakulembeze ba DP abaalondeddwa bayitiddwa okwesogga akafubo okuteesa ku ngeri y’okutwalamu ekibiina mu maaso. Ssenkaggale w’ekibiina kino Norbert Mao agambye nti essira bakulissa ku ngeri y’okugattamu ekibiina okumalawo entalo, okunyweeza ekiwayi ky’abavubuka kko n’eky’abakyala. Kyokka ate Mao ategeezezza ng’abo abeekutudde ku bukulembeze bwe bwebatajja kulemesa […]

Nantaba ajjeeyo foomu

Nantaba ajjeeyo foomu

Ali Mivule

July 28th, 2015

No comments

Bannakibiina kya NRM abagaala okwesimbawo ku bifo ebitali bimu bakyagenda mu maaso n’okukimayo foomu ng’olwaleero minisita omubeezi ow’ebyettaka Aidha Nantaba y’omu ku bajjeeyo foomu. Nantaba nga ye mubaka we Kayunga omukyala ayagala kudda ku kifo kino Abalala abajjeeyo foomu kuliko omubaka we Kyamuswa Tim Lwanga […]

Abatujju amasimu bagagula ku Majestic Plaza- musuubuzi

Abatujju amasimu bagagula ku Majestic Plaza- musuubuzi

Ali Mivule

July 28th, 2015

No comments

  Kizuuliddwa olwaleero nti essimu ebbiri ezaakozesebwa okubalula bbomu mu Kampala zagulibwa okuva ku kizimbe kya Majestic Plaza wano mu Kampala Zino zaagulwa ng’ebula ennaku bbiri , bbomu zino zitegebwe Bino byogedde omutunzi w’amasimu ku kizimbe kino Joseph Makubuya ng’ono yeeyatunda amasimu gano eri Hassan […]

Minisita Byandala asindikiddwa e Luzira

Minisita Byandala asindikiddwa e Luzira

Ali Mivule

July 28th, 2015

No comments

Eyali minisita w’ebyenguudo Eng Abrahama Byandaala olwaleero asula Luzira Byandala asindikiddwa mu kkomera okutuuka nga 11 omwezi ogujja w’anaddira okusaba okweyimirirwa. Ono nno eyayitiddwa ku ofiisi ya kaliisoliiso okunyonyola ku bikwatagana n’oluguudo lwe Mukono Katosi, tazze waka nga bweyabadde asuubira, bw’atwaliddwa butereevu mu kkooti ewozesa […]

Obama akolokose aberemeza mu buyinza

Ali Mivule

July 28th, 2015

No comments

Omukulembeze w’eggwanga lya America Barack Obama akolokose abakulembeze mu Africa abagufudde omuze okumaamira obuyinza. Obama abadde ayogerako eri abakulembeze ba Africa okuva mu mawanga 54 abakungaanidde mu kibuga Addis Ababa ekya Ethiopia. Ono agambye nti kikwasa ennaku okulaba nti ate abalina ssente beebasinga okukola kino […]

Etteeka ku sigala liyise

Ali Mivule

July 28th, 2015

No comments

Palamenti eyisizza ebbago ly’etteeka eryongera okukaliga abafuuwa sigala. Ebbago lino kuva mu mwaka gwa 2013 nga litudde. Etteeka eriyisiddwa liragira abanywa sigala okwewala ebifo byonna eby’olukale nga balina okulekawo mita 50 Abantu abatannaba kuweza myaka 21 tebalina kunywa sigala. Ebipapula ebibaamu sigala byakubaako ebiwandiiko ebinene […]

Minisita Byandala akwatiddwa

Ali Mivule

July 28th, 2015

No comments

Eyali minisita w’ebyenguudo Eng Abrahama Byandaala akwatiddwa. Byandaala akwatiddwa ku byekuusa ku luguudo lwe Mukono Katosi olwavulugibwa nga kati agenda kuggulwaako misango gya bukenuzi. Omwogezi wa wofiisi wa Kaliisoliiso Ali Muniira akakasizza okukwatibwa kwa Byandala n’ategeeza nti ono baamuyise okubaako neby’abategeeza kyokka nebasalawo okumutwala mu […]