Amawulire
Nantaba ajjeeyo foomu
Bannakibiina kya NRM abagaala okwesimbawo ku bifo ebitali bimu bakyagenda mu maaso n’okukimayo foomu ng’olwaleero minisita omubeezi ow’ebyettaka Aidha Nantaba y’omu ku bajjeeyo foomu.
Nantaba nga ye mubaka we Kayunga omukyala ayagala kudda ku kifo kino
Abalala abajjeeyo foomu kuliko omubaka we Kyamuswa Tim Lwanga ng’ono ayagala kubeera ssentebe wa disitulikiti ye Kalangala.
Abalala kuliko eyali munnamawulire Grace Matsiko ayagala okwesimbawo mu kifo ekipya ekye Kigolobya mu disitulikiti ye Hoima.
Okusinziira ku kiwandiiko ekivudde mu NRM, abantu 1200 beebakajjayo foomu.