Amawulire

Kalungi Plaza ekyaali nsibe

Kalungi Plaza ekyaali nsibe

Ali Mivule

July 29th, 2015

No comments

Ekizimbe kino kyaggaddwa olunaku lwajjo oluvanyuma lw’ekitongole kya KCCA ekikola ku byobulamu okukakasa nti kibadde kibulamu mu byobulamu. Amaduuka mangi gassiddwaako ebipande ebyetondera bakasitoma nebabasaba okubeera abagumikiriza. Ekizimbe ekyogerwaako kirina kabuyonjo enjama ennyo, ebisenge byaaguba kko ne wansi wonna awazze wameguka Abasuubuzi aboogeddeko naffe kyokka […]

Ababatwala okukuba ekyeeyo mubetegereze

Ababatwala okukuba ekyeeyo mubetegereze

Ali Mivule

July 29th, 2015

No comments

Bannayuganda abagaala okukuba ekyeeyo ebweru basabiddwa okusooka okwebuuza ku poliisi ku bibiina ebibatwala nga tebannaba kusimbula kuva wano. Amagezi gano gavudde eri kamisona wa poliisi akola ku nsonga z’okukusa abantu Moses Binoga ng’eggwanga lyetegeka okukuza olunaku lw’okulwanyisa okukusa abantu olunaku lwajjo. Binoga agambye bannayuganda bangi […]

Emivuyo mu nguudo- poloti zagulwa mu ntobazi

Emivuyo mu nguudo- poloti zagulwa mu ntobazi

Ali Mivule

July 29th, 2015

No comments

Ebipya byongedde okuzuuka ku mivuyo egyetobose mu kuzimba enguudo za Uganda. Olwaleero akakiiko akanonyereza ku mivuyo gino kakizudde nti ensimbi eziweza obuwumbi 18 zeezaweebwa kkampuni y’ekikwangala okutwala ettaka eryaali mu ntobazi. Kkampuni eyogerwaako emanyiddwa nga Excellent Assorted Manufacturers ng’eno nyini yyo ye Moses Magala. nga […]

Lukwago akoze ekibiina kye

Lukwago akoze ekibiina kye

Ali Mivule

July 29th, 2015

No comments

Loodimeeya wa kampala Ssalongo Erias Lukwago atongozezza ekibiina ekituumiddwa Platform for Truth and Justice. Mu Lukiiko lwa bannamawulire lw’ayise, Lukwago agambye nti ekibiina kino akitonzeewo ng’ekisinde ekinalwanirira amazima mu DP kubanga obukulembeze bwaava dda ku mulamwa Lukwago agambye nti abakulembeze mu DP abakulembeddwaamu Norbert Mao […]

Omuyimbi Raggae Dee ayagala bwa Loodimeeya

Omuyimbi Raggae Dee ayagala bwa Loodimeeya

Ali Mivule

July 29th, 2015

No comments

  Omuyimbi Daniel Kazibwe  amanyiddwa enyo nga Raggae Dee ajjeeyo empapula okwesimbawo mu kamyufu ka NRM ku bya Lord Mayor bwa Kampala. Raggae ye muyimbi ow’okubiri okuyingira eby’obufuzi mu NRM ng’eyasooka ye Judith Babirye ayagala okukiikirira disitulikiti ye Buikwe mu palamenti. Bw’abadde yakamala okujjayo empapula […]

teri kukozesa ndagamuntu- kakiiko akalondesa

Ali Mivule

July 29th, 2015

No comments

Akakiiko akalondesa mu ggwanga kalangiridde nti abantu okulonda ssi bakukozesa ndagamuntu nga bwekibadde kitegekeddwa Kiddiridde okukizuula nti abantu bangi tebeewandiisa kufuna kaadi zino ate nga n’abalala tebazifunanga. Kati abagenda okulonda bakubakebera ku lukalala olukadde okulaba oba alonda yooyo nga bakozesa ekifananyi ekiriko. Kino kirangiriddwa omwogezi […]

Abadde atoloka afudde

Abadde atoloka afudde

Ali Mivule

July 29th, 2015

No comments

Omusajja omu afudde  bw’abadde nebanne ababundabunda abali eyo mu 1500 nga bagezaako okusalinkiriza bayite mu mudumu ogutwala  amazzi  okwesogga eggwanga lya Bungereza. Bano babadde bakyali mu ggwanga lya Bufaransa nga poliisi egezaako okubatangira okusala. Kino kizze nga ssabaminisita w’eggwanga lya Bungereza David Cameron ky’ajje asuubize […]

Abasala eddiiro bejjusa

Abasala eddiiro bejjusa

Ali Mivule

July 29th, 2015

No comments

Abantu abasoba mu 600 abaasala eddiiro nebegatta ku kibiina kya NRM batiisizza okuddayo mu bibiina byabwe . Bano baagala abakulira ekibiina kya NRM babasisinkane mu butongole nga bamemba b’ekibiina.   Nga bakulembeddwamu Apollo Jaramogi, bategezezza nga bwebasalawo okuva mu bibiina byabwe omwaka oguwedde wabula tebabalabawo. […]

Atemyeeko bba engalo lwa bwenzi

Atemyeeko bba engalo lwa bwenzi

Ali Mivule

July 29th, 2015

No comments

Poliisi mu disitulikiti ye  Lwengo eri ku muyiggo gw’omukazi asazeeko bba engalo ng’amulanga bwenzi. Flavia Namale , omutuuze ku kyalo Kawuniro y’ayiggibwa bw’akakkanye ku bba Paul Mugerwa n’amutemako engalo 3. Namale yasabye bba amuyambe amunalizeeko muwala waabwe kyeyagaanye n’ayingira mu nyumba n’agyayo ejjambiya n’amutemako engalo. […]

Owa palamenti asibiddwa emyaka 10

Owa palamenti asibiddwa emyaka 10

Ali Mivule

July 29th, 2015

No comments

Eyali akulira eby’embalirira ya Palamenti Samuel Wanyaka asindikiddwa e Luzira yebakeyo emyaka 10 lwakukumpanya bukadde bwa siringi 822. Kkooti ewozesa abakenuzi era eragidde  Wanyaka ono okuzza ensimbi zino. Nga awa ensalaye, omulamuzi  Paul Mugamba  ategezezza nga bw’akalize Wanyaka emyaka gino gyonna afuuke eky’okulabirako eri abalala. […]