Amawulire
Abawanguddwa mugume- DP
Abakulembeze b’ekibiina kya Democratic Party basabye banaabwe abaamegeddwa mu kalonda abakulembeze b’ekibiina kino okwerabira enjawukana begatte batwale ekibiina mu maaso. Eyakaddamu okulondebwa ku bwa ssabawandiisi bw’ekibiina kino Matia Nsubuga agamba kati betaaga kuddamu kuzimba kibiina nga betegekera okulonda kw’omwaka ogujja. Nsubuga agamba yadde nga waliwo […]
13 bafiiridde mu bbomu
Abantu 13 bafiiridde mu bulumbaganyi bwa bbomu etegeddwa mu woteeri emu mu kibuga Mogadishu mu ggwanga lya Somalia. Bbo abasoba mu 40 babuuse n’ebisago ebyamanyi mu woteeri ya Jazeera Palace. Abakambwe ba Al shabab bewanye nga bwebabadde emabega w’obulumbaganyi buno era nebategeeza nga bwebabadde besasuza […]
Teri kwongezaayo kujjawo foomu
Akakiiko k’ekibiina kya NRM akalondesa kategeezezza nga bwekatagenda kwongezaayo nsalesale w’okujjayo foomu z’okusunsulibwa kw’abagenda okwesimbawo ku bifo ebyenjawulo. Okugyayo empapula zino Kukomekerezebwa wiiki eno nga kwatandika nga 14 nga era kwakuggwa nga 31 July. Bannakibiina abasoba mu 1500 bebakagyayo empapula z’okwesimbawo nga okusinga abaagala okukiika […]
Omukka ogubalagala guvuddeyo
Poliisi mu kibuga Mbarara y’akubye omukka ogubalagala mu bawagizi b’eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye. Abawagizi ba Besigye baabadde bajaganya olw’enkungaana omuntu waabwe zeyakubye mu kunonya akalulu ku ani anakwatira ekibiina kya FDC bendere mu kulonda kwa 2016. Kino kyaggye poliisi […]
Obama avumiridde abatyoboola eddembe ly’abakyala
Omukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barrack Obama asuubizza nga gavumenti ye bw’egenda okwongera okuwagira olutalo ku batujju. Nga ayogerako eri namunji w’omuntu ku kisaawe kye Kasarani mu kibuga Nairobi, Obama y’ategezezza nga bwebasobola okuwangula abatujju nga bali wamu. Ono era y’avumiridde ekikolwa ky’okutulugunya abakayala n’obutabanguko mu […]
Olukiiko lwa Mbabazi ne NRM lugudde butaka
Olukungaana olwayitiddwa wakati w’akakiiko akateekebwawo olukiiko olw’okuntikko olufuga ekibiina kya NRM n’eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi akawungeezi k’eggulo terwavuddemu kalungi. Amawulire getufunye galaga nti buli ludda lwalemeddwa okuwulira okusaba kw’olulala. Kigambibwa nti Mbabazi yegaanyi okuyimiriza enteekateeka ze ez’okwesimbawo ate n’akakiiko nekagaana okukyuusa mu […]
Awonye okwokyebwa
Poliisi ye Seeta Nazigo ekubye amasasi mu bbanga okutaasa ababbi b’ente bebabadde bagenda okwokyebwa abatuuze. Kigambibwa nti Kamya Peter ne Kasule Micheal abatuuze mu Lubugo babbye ente 2 okuva mu bitundu bye Namayiba mu gombolola ye Nakisunga, wabula abatuuze babawondedde nebakwatira e Seeta Nazigo akawungeezi […]
Makerere esenvudde
Ettendekero lya Makerere lyeyongedde okukola obulungi mu nsegeka y’amatendekero agasinga okukola obulungi munsi yonna. Okusinzira ku nsengeka empya ezikoleddwa ekitongole kya Centre for World University Rankings Makerere esenvudde ebifo 22 okuva mu kifo kya 891 mu mwaka gwa 2014 okutuuka mu kifo kya 869 omwaka […]
Obama wakusomesa abafirika ku Bisiyaga- BBC
Omukulembeze w’eggwanga lya America Barrack Obama ategeezezza omukutu gwa BBC nga bw’ajja okufuba okukakasa bannakenya nti kikyaamu okuboola abalya ebisiyaga Obama agambye nti takkiririza mu kuboola kwonna okwesigamye ku kikula ky’omuntu oba langi kale nga nebano wakubamatiza Obama bino abyogedde asitula okwolekera Kenya ng’eno gy’azaalibwa. […]
Teri nyonyi zidda London
Kkampuni y’enyonyi eya British Airways yakulekera awo okusaabaaza abantu abagenda ku kisaawe kya Heathrow, London okuva Entebbe. Kino kikoleddwa kubanga asala abadde asusse ng’abatambula batono. Ekiwandiiko ekivudde mu kkampuni ya British Airways kiraze nti okusaabaza abagenda mu London kwakukoma mu October w’omwaka guno. Kkampuni eno […]