Amawulire

Mutabani wa Gaddafi wakuttibwa nga kitaawe

Ali Mivule

July 28th, 2015

No comments

Kkooti mu ggwanga lya Libya esalidde mutabani w’omukulembeze w’eggwanga lya Libya Muammar Gaddafi  ekibonerezo kya kuttibwa. Saif al-Islam ne banne abalala 8 bakuttibwa olw’emisango egyekuusa ku lutalo mu 2011. Saif ne banne abalala bavunaanibwa kutulugunya beekalakaasi mu 2011 mu lutalo olwamamulako kitaawe Muammar Gaddafi. Wabula […]

Obulango ku mwenge busikiriza abavubuka

Ali Mivule

July 28th, 2015

No comments

Okwongera okulanga omwenge kitunuuliddwa nga ebimu ku biviiriddeko abaana abatanetuuka okwongera okunywa omwenge. Akulira ekibiina ekilafubanira enkulakulana mu bavubuka ekya  Uganda youth development Link Rogers Kasirye agamba obulango buno busikirizza abavubuka bangi okukeera okunywa omwenge olwo nebegadanga mungeri yekyeyononero olw’ettamiiro. Agamba wasaana okubeerawo etteeka ekkakali […]

Kalungi Plaza eggaddwa lwa bujama

Ali Mivule

July 28th, 2015

No comments

Ekitongole kya Kampala Capital City Authority ekikole ku by’obulamu kiggadde ekizimbe kya Kalungi Plaza lwa bukyaafu. Abasuubuzi abasinga bibasobedde nga abamu balabiddwa nga batudde ku miryango gy’amaduuka gaabwe.   Kino kizze tewanayita na mwezi nga KCCA yakaggala ekizimbe ekirala ekya Kizito Towers nga era Omwogezi […]

Ogw’abatujju gukyagenda mu maaso

Ali Mivule

July 28th, 2015

No comments

Omusango gw’abateberezebwa okutega bbomu nga July 11th 2010 guzzemu okuwulirwa mu kkooti enkulu nga era omujulizi owa 19 Joseph Makubuya asimbiddwa mu kaguli. Makubuya ategezezza kkooti nga omu ku bavunanwa Hassan Luyima bweyamugulako essimu mu dduuka lye ku Majestic Plaza ezigambibwa okuba nti zezakozesebwa okutegulula […]

Aba bodaboda bagaala alina

Ali Mivule

July 28th, 2015

No comments

Abagoba ba BodaBoda mu kibuga kye Mukono balangiridde nti bakuwagira omuntu oba ekibiina kyebyobufuzi mu kalulu akajja nga balina webafunira. Bagamba aba NRM babesibako era babagaana okuwagira aba Opposition songa bbo kyebatunulidde ye muntu anabakyusaako ku mbeera nebyenfuna byabwe. Okwogera bino mu bukambwe kivudde ku […]

Bamusse

Ali Mivule

July 28th, 2015

No comments

Okuvaako e Lwengo ku kyalo  Kyamukama abatuuze baguddemu entiisa bwebagudde ku mulambo gw’omusajja nga gugangalamye ku mabbali w’oluguudo.   Omugenzi ategerekese nga  Joseph Muzuni. Ssentebe bw’ekyalo kino  Kudura Ndyanabo, agamba Muzuni yakoma okulabibwako ku sande ku mbaga emu ku kyalo.   Omwogezi wa poliisi mu […]

ababbi ba Bodaboda battiddwa

Ali Mivule

July 28th, 2015

No comments

E Bukomansimbi ababbi ba bodaboda 3 bakubiddwa emiggo egibatiddewo. Abasatu bano kigambibwa nti babadde bagezako okutta omuvuzi wa bodaboda gwebapangisizza okubatwala e Bukomansimbi okuva e Masaka. Omuvuzi wa Boda ono ategerekese nga John Matovu akubye enduulu esombodde abaddukirize nebakkakana ku basatu bano nebabatta.   Poliisi […]

Mukwatizeeko poliisi okukuuma abaana

Ali Mivule

July 28th, 2015

No comments

Ssabapoliisi w’eggwanga  Gen Kale Kayihura  asabye bannayuganda bonna okukwatiza awamu ne poliisi okusobola okukuuma omwana omuwala.   Okusaba kuno kuzze wakayita olunaku lumu lwokka poliisi kyeggye efulumye alipoota nga emisango gy’okukabasanya abaana abawala bwegizze gikendeera.   Okusinziira ku  Kayihura, emisango gy’okukwata abakazi, okusobya ku bawala […]

Abasomesa bediimye

Abasomesa bediimye

Ali Mivule

July 27th, 2015

No comments

Abasomesa mu disitulikiti ye Sironko batadde wansi ebikola nga bemulugunya kulwawo kusasulwa misaala gyabwe.   Ku lwokutaano lwa ssabbiiti ewedde, amasomero ga gavumenti gonna gaggalwa nga baagala akulira abakozi mu disitulikiti eno Joseph Lomongin ababulire ekigenda mu maaso.   Wiiki ewedde abakozi ba gavumenti batiisa […]

Aba DP babagumizza

Aba DP babagumizza

Ali Mivule

July 27th, 2015

No comments

  Abakulembeze b’ekibiina kya  Democratic Party basabye banaabwe abaamegeddwa mu kalonda abakulembeze b’ekibiina kino okwerabira enjawukana begatte batwale ekibiina mu maaso.   Eyakaddamu okulondebwa ku bwa ssabawandiisi bw’ekibiina kino  Matia Nsubuga agamba kati betaaga kuddamu kuzimba kibiina nga betegekera okulonda kw’omwaka ogujja.   Nsubuga agamba […]