Amawulire

Omuyindi bamukutte lwa buzigu

Omuyindi bamukutte lwa buzigu

Ali Mivule

August 6th, 2015

No comments

Poliisi mu disitulikiti ye Nakasongola ekutte omuyindi lwa buzigu. Kiddiridde okulumbibwa kwa faamu ya Smart Uganda ku kyaalo Wakasambya nebatta abadde alabirira faamu eno n’okubba ensimbi enkalu Kigambibwa nti akwatiddwa ye Sigh Ravindha yeeyakulemberamu abazigu abaalumba faamu eno nga bano beebanasula amasasi agatta Sanjey Ramidah […]

Mufe ku bannayuganda abakuab ekyeyo- Lukyamuzi

Ali Mivule

August 6th, 2015

No comments

Gavumenti erumbiddwa olw’obutakola kimala kukuuma bannayuganda abali emitala w’amayanja. Omubaka we Lubaga mu bukiikaddyo John Ken Lukyamuzi agamba nti bannayuganda bangi bavundira mu makomera ebweru naddala mu mawanga ga Buwarabu kyokka nga tewali ayamba. Lukyamuzi agamba nti ate waliwo n’abalala abatulugunyizibwa mu mawanga gyebali era […]

Omuliro gusse basatu

Ali Mivule

August 6th, 2015

No comments

Abantu basatu okuva mu maka gamu basirikkidde mu muliro ogukutte akasiisira mwebabadde beebase Ekikangabwa kino kigudde ku kyaalo Katwaki , e Butebo mu disitulikiti ye Pallisa. Abafudde kuliko Margret Kayendeke ow’emyaka 35, Doreen Mudondo ow’emyaka 10 ne Jude Oyemeti omwana ow’omwaka ogumu gwokka Yye ssemaka […]

Akeediimo kakyaliko- abakozi mu matendekero balemeddeko

Akeediimo kakyaliko- abakozi mu matendekero balemeddeko

Ali Mivule

August 6th, 2015

No comments

Abakulembeze b’abakola emirimu egitali gyabusomesa mu matendekero ga gavumenti bakusisinkanamu ku ttendekero ly’e Makerere okulaba eky’okuzzaako oluvanyuma lw’okulangirira akeediimo. Akeediimo kaabwe katandika ku mande ssabbiiti eno nga era kasanyalazza emirimu mu matendekero gonna . Abakozi bano baagala obuwumbi 31 bongezebwe emisaala. Ssentebe w’ekibiina ekigatta abakozi […]

Abawala balina okusasulwa- Kkooti

Abawala balina okusasulwa- Kkooti

Ali Mivule

August 6th, 2015

No comments

Enkola y’okusasula ebintu ebitwalibwa ku buko ssiyakuwerebwa. Kkooti ensukulumu esazewo nti tewali nsonga lwaki bawera enkola eno nga era abalamuzi ba kkooti eno 6 ku 7 nga bakulembeddwamu Bart Katureebe bakkiriziganyizza bukuyege n’ekyasooka okusalibwawo  kkooti etaputa ssemateeka. Bano bategezezza nga bwekitali kwabuwaze omugole omusajja okuwaayo […]

Eyasobya ku kizibwe asibiddwa emyaka 12

Eyasobya ku kizibwe asibiddwa emyaka 12

Ali Mivule

August 5th, 2015

No comments

Kkooti enkulu e Masaka eriko omusajja ow’emyaka 32 gw’esibye emyaka 12 lwakusobya ku mwana ow’emyaka 12. Robert Twesigye omutuuze ku kyaalo Kisinda e Rakai omwana gweyasobyaako kizibwe we. Kkooti ekubirizibwa omulamuzi John Keitirima ekitegeddeko nti Twesigye omusango yaguzza mu mwaka gwa 2012 nga yakozesa akakisa […]

Mutabani wa Gaddafi atulugunyizibwa

Mutabani wa Gaddafi atulugunyizibwa

Ali Mivule

August 5th, 2015

No comments

Waliwo akatambi akafulumiiziddwa nga kalaga abakuumi mu kkomera nga batulugunya mutabani w’omugenzi Col Mummar Gaddafi n’abasibe abalala era nga kati kanonyerezebwaako Akatambi kano kalaga Saadi Gaddafi ng’akaaba mu bulumi wakati mu kukubwa abakuumi obwedda abamulinnyako. Ssabawaabi mu ggwanga lya Libya ategeezezza nti bakunonyereza okuzuula abakuumi […]

Ababaka bakyawenja kalulu

Ababaka bakyawenja kalulu

Ali Mivule

August 5th, 2015

No comments

Eyali sipiika wa palamenti nga kati n’amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi agamba nti emirimu gya palamenti girina okukolebwaako mu bwangu ng’ebibiina tebinnaba kutandika kuwandiisa banesimbawo, ababaka bwebaba nga bakwetaba mu kuteesa Kino kijjidde mu kaseera nga palamenti etubidde n’enongosereza mu mateeka g’ebyokulonda olw’ebbula ly’ababaka […]

Omubaka SSewungu yesunga mirimu

Omubaka SSewungu yesunga mirimu

Ali Mivule

August 5th, 2015

No comments

Nampala w’ekibiina kya DP omuggya Joseph Ssewungu agamba nti omulimu gwe omukulu kugenda kubeera kugatta ba memba ba kibiina. Olunaku lwajjo akulira ekibiina kya DP Nobert Mao yagobye Ssebuliba Mutumba ne Ssewungu oluvanyuma lw’ekisanja kye okuggwaako. Ng’awayaamu naffe, Sewungu agambye nti mu kadde kano, entalo […]

Abe Mukono balabudde Mbabazi

Abe Mukono balabudde Mbabazi

Ali Mivule

August 5th, 2015

No comments

Bannakibiina kya NRM e Mukono balayidde nti bbo ssi bakuwa eyali Ssabaminisita John Patrick Amama Mbabazi buwagizi mu kitundu kino. Bano abakulembeddwamu Ssentebbe wa disitulikiti  ye Mukono Francis Lukooya Mukoome balangiridde kawefube w’okutalaaga amagombolola gonna nga balaga obubi bwa Mbabazi eri  abantu era tebagala abeeko […]