Amawulire

Eyasobya ku kizibwe asibiddwa emyaka 12

Eyasobya ku kizibwe asibiddwa emyaka 12

Ali Mivule

August 5th, 2015

No comments

File Photo: Abantu nga bali mu kooti

File Photo: Abantu nga bali mu kooti

Kkooti enkulu e Masaka eriko omusajja ow’emyaka 32 gw’esibye emyaka 12 lwakusobya ku mwana ow’emyaka 12.

Robert Twesigye omutuuze ku kyaalo Kisinda e Rakai omwana gweyasobyaako kizibwe we.

Kkooti ekubirizibwa omulamuzi John Keitirima ekitegeddeko nti Twesigye omusango yaguzza mu mwaka gwa 2012 nga yakozesa akakisa nga maama w’omwana ono agenze kuziika.

Oludda oluwaabi lugamba nti alipoota z’abasawo ziraga nti omusajja ono yatuuka n’okutiisatiisa omwana ono obutayogera ng’agamba nti ssinga akikola wakumutta.

Omulamuzi agambye nti omuwawaabirwa ono amusibye emyaka 12 gyokka kubanga abadde amaze emyaka 3 mu kkomera.