Amawulire
Ogwa Byandaala gukyaali
Okunonyereza ku musango gwa minisita atalina mulimu gwankalakalira Abraham Byandala ku luguudo lw’e Katosi tekunaggwa. Kkooti ewozesa abakenuzi ewadde kaliisoliiso wa gavumenti omwezi omulala gumu gwokka okumaliriza okunonyereza kuno ne banne abalala bataano abaali abakozi mu kitongole ky’ebyenguudo. Emisango egyagulwa ku bano kuliko okukozesa bubi […]
Alongoosa e Mulago bamukutte
Abakulira eddwaliro ly’e Mulago baliko alongoosa gwebakutte lwakubba bikosesebwa mu ddwaliro lino ebibalirirwamu obukadde bwa siringi butaano. Akulira abalondoola eby’obulamu okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga Moses Talemwa akakasizza okukwatibwa kw’omusajja ono. Omukwate ategerekese nga Paul Kitanda omukozi mu kampuni erongoosa eya Norema cleaning services. Ebintu […]
Omukago gugoby Lukwago- Mao
Ab’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa Democratic Alliance baganye okuwandiisa ekisinde kya loodi meeya Erias Lukwago ekya plaform for truth and Justice nga kino kyekutula ku kibiina kya DP. Ssenkaggale w’ekibiina kya DP nga naye memba mu mukago guno agamba ebibiina by’obufuzi musanvu byonna wamu […]
Omukka gubalagala
Poliisi ye Pajure mu disitulikiti ye Pader ekubye omukka ogubalagala mu bawagizi b’eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye. Bino byonna okubaawo nga Besigye ayolekera mu kifo w’abadde alina okukuba olukungaana ekitasobose. Akulira abakyala mu FDC Ingrid Turinawe ategeezezza nga Besigye bweyategezezza poliisi ku […]
Okukebera enkalala kuggw aleero
Nga ebula ssaawa mbale okutimba enkalala z’abalonzi kukomekkerezebwe, akakiiko k’ebyokulonda kalabudde nti teri kwongezayo nsalesale waleero. Okuva nga July 22nd akakiiko kano kabadde katimba enkalala zino nga abalonzi bekebera amanya gaabwe okusobola okulongoosa enkalala zino. Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Jotham Taremwa agamba bakoze okulanga okumala kale […]
Okulwa mu buyinza ssi kibi- Museveni
Pulezidenti Yoweri Museveni ategezezza nga bwatayinza kwetonda eri mukulembeze w’eggwanga lya Amerika Barak Obama oba eri omuntu omulala yenna olw’okulwa mu buyinza. Museveni agamba ensonga y’ekkomo ku bisanja yagonjolwa dda oluvanyuma lw’abannayuganda okusalawo okugisimbira ekkuuli. Museveni okwogera bino kiddiridde pulezidenti wa Amerika Barak […]
Uganda ssi yakukwata Bashir
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni ategezezza nga Uganda bwetasobola kukwata pulezidenti wa Sudan Omar El Bashir. Bashir yayitiddwa okwetaba mu lukungaana lw’ebyenkulakulana wansi w’omukago gwa IGAD. Museveni agamba bbo bakukuuma Bashir era yewunya eggwanga lya South Africa abaali baagala okumuwayo akwatibwe . Bashir yetagibwa kkooti y’ensi […]
Ebifo ebirala mu palamenti byaaki- Bukenya
Akakiiko k’ebyokulonda kasabiddwa okukulemberamu omulimu gw’okusaba ebifo ebipya omulonderwa mu kifo ky’okutambulira ku by’obufuzi okutondawo ebipya Kino kizze nga palamenti yakayisa ekiteeso ekitondawo ebifo ebipya 65 ebigenda okuvaamu ababaka ba palamenti. Eyali amyuka omukulembeze w’eggwanga Prof. Gilbert Bukenya agamba nti ebifo ebisusse abantu abangi nga […]
Ensimbi z’abasomesa ziyimiriziddwa
Akakiiko ka palamenti akabalirira ensimbi y’omuwi w’omusolo kayimirizza ensimbi eziweza obuwumbi 25 ezibadde zirina okuweebwa abasomesa. Ensimbi zino pulezidenti Museveni yalagira nti ziweebwe abasomesa okwekulakulanya nga ziyita mu kibiina kya UNATU nga kino kyekigatta abasomesa. Abasomesa ku ntandikwa ya taamu eno bassa wansi ebikola nga […]
Aba Mbabazi bekozeemu ekibinja
Abawagizi b’eyali ssabaminista Amama Mbabazi e Soroti batonzeewo ekibinja kya bantu 64 abagenda okumuyiggira akalulu mu bannakibiina kya NRM. George Okoit nga y’abakulembeddemu bw’abadde ayogerako eri bannamawulire agambye nti kino kikoleddwa okwetoloola eggwanga lyonna okulaba nti yadde Mbabazi teyesimbyeewo mu NRM, agijjamu abawagizi. Ono agamba […]