Amawulire

Ensimbi z’abasomesa ziyimiriziddwa

Ensimbi z’abasomesa ziyimiriziddwa

Ali Mivule

August 6th, 2015

No comments

File Photo: Ababaka ba Palamenti mu lutuura

File Photo: Ababaka ba Palamenti mu lutuura

Akakiiko ka palamenti akabalirira ensimbi y’omuwi w’omusolo kayimirizza ensimbi eziweza obuwumbi 25 ezibadde zirina okuweebwa abasomesa.

Ensimbi zino pulezidenti Museveni yalagira nti ziweebwe abasomesa okwekulakulanya nga ziyita mu kibiina kya UNATU nga kino kyekigatta abasomesa.

Abasomesa ku ntandikwa ya taamu eno bassa wansi ebikola nga bagaala kuweebwa nsimbi zaabwe zebagamba nti pulezidenti yazibawa era tewali nsonga lwaki ate aba gavumenti bagaala okuzezza

Olwaleero kitegerekese nti ensimbi zino zikyaali ku akawunta ya minisitule ekola ku nsonga z’ebyenjigiriza yadde nga minisitule ekola ku by’ensimbi yalagira nti ziweebwe abasomesa.

Kati akakiiko akakulira omubaka alice Alaso kalagidde nti ensimbi zino teziweebwa basomesa kubanga bayinza okuzikozesa obubi.

Wabula ababaka abatuula ku kakiiko keekamu nga bakulembeddwamu Joseph Sewungu ne Jessica Ababiku benyamidde nti ekikolwa kino kiyinza okusikuula abasomesa

Kati ensimbi zino zigenda kusindikibwa mu nsawo ya gavumenti ebaamu ensimbi z’obwegassi

Kati abasomesa bagamba nti bbo kyebagaala ssente tebagaala mboozi zino

Ssabawandiisi w’ekibiina ekitaba abasomesa James Tweheyo agamba nti bakussa wansi ennoni ssinga ssente zino tebazifuna