Amawulire

Akakiiki ke byo kulonda kagobye obuboneero obya sekinomu

Akakiiki ke byo kulonda kagobye obuboneero obya sekinomu

rmuyimba

August 14th, 2015

No comments

Teri Muntu agenda kwezimbawo ku kifo kyonna mu kulonda kw’omaka ogujja agenda kukkirizibwa kukozesa kabonero kake nga omuntu. Akola nga Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Joseph Biribonwa agamba baakakasizza obubonero 10 obugenda okukozesebwa abagenda okwesimbawo nga abatalina bibiina. Obumu ku bubonero obukakasiddwa kuliko eggaali, ensuwa, essaawa, entebe, […]

Abatunda omwenge babasomesezza

Ali Mivule

August 13th, 2015

No comments

Poliisi ekwataganye n’abasogozi b’omwenge aba Nile breweries limited okubangula abatunda omwenge ku nkola entuufu ey’okukolamu omulimu gwaabwe. Esiibye Namasuba, Najjankumbi ne Zana. Atwala poliisi ye Kajjansi Anthony Nkesiga agamba nti kino kigendereddwaamu kuyamba bantu abanywa omwenge naddala abakozesa oluguudo olwo. Nkesiga agamba nti engeri oluguudo […]

Abapoliisi abafere bakwatiddwa

Ali Mivule

August 13th, 2015

No comments

Waliwo aba poliisi ebakwatiddwa nga baliko omukazi gwebafera mu kibuga Abasirikale bano abawerera ddala bana batwaliddwa butereevu mu kkooti ya cityhall mu maaso g’omulamuzi Moses Nabende abasindise e Luzira oluvanyuma lw’okwegaana emisango. Abamu ku bakwatiddwa kuliko John Emojong abadde akolera ku poliisi y’omu kikuubo, Michael […]

Bataano balumiziddwa mu kabenje

Ali Mivule

August 13th, 2015

No comments

Abantu 5 baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala ttaka oluvanyuma lw’okugwa ku kabenje akabalese nga bamenyesemenyese. Bano bonna babadde ku Tippa y’omusenyu eremeredde omugoba waayo wali e Maganjo n’egwa. Abamu ku bakoseddwa mu kabenje kano kuliko Steven Magala ne Jonah Musisi nga beebokka ababaddeko ebiboogerako. Bano […]

NKyalina obusobozi -ZZiwa

Ali Mivule

August 13th, 2015

No comments

Eyali akubiriza olukiiko lw’amawanga ga East Africa Margret Zziwa agamba nti alina obuvumu n’obusobozi obuddukanya emirimu gya NRM yadde yajjibwaamu obwesige mu palamenti ya East Africa. Zziwa ayagala kukulembera bakyala mu NRM ne Kampala Ono  ekyamugobya kulemererwa mirimu ekyasiba enzirukanya y’emirimu. Zziwa agamba nti by’akoze […]

Abavuganya ssi bakuzira kalulu

Ali Mivule

August 13th, 2015

No comments

Ba memba b’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa Democratic Alliance ssibakuzira kalulu ka 2016. Mu lukungaana lwabannamawulire lwebatuzizza olwaleero, bano bategeezezza nti bino byonna bigendereddwaamu kubanyigiriza bekyaaye bazire okulonda kyokka nga tebajja kukikola Bano era balangiridde nti bavudde mu mukago ogugatta ebibiina byonna ogwa IPOD […]

Bbomu esse abasoba mu 70

Ali Mivule

August 13th, 2015

No comments

Abantu 59 beebafiiridde mu bulumbaganyi bwa bbomu etegeddwa mu kiroole mu bukiikakkono bw’ekibuga Baghdad ekikulu ekya Iraq. Bbomu eno eyabikidde mu katale akamanyiddwa nga Jameela ng’ekifo kino kisingamu ba shia Ekibinja ky’aba sunni ekya Islamic state kyewaanye okukola obulumbaganyi buno. Bbo abantu abasoba mu 20 […]

Omu afiiridde mu kabenje

Ali Mivule

August 13th, 2015

No comments

Omuntu omu afiiridde mu kabenje ka motoka n’abalala 3 nebafuna ebisago ebyamanyi mu kabenje akagudde ku luguudo oluva e Mubende okudda e Mityana . Akabenje kano kagudde ku kyalo Kalembe mu gomboloola ye Kitenga Mubende motoka ekika kya Noah namba UAX 655A ng’eno ebadde eva […]

Omwaalo gugguddwaawo

Ali Mivule

August 13th, 2015

No comments

Abavubi abakolera ku mwalo gwe Katosi gavumenti gw’ebadde yayimiriza olw’obucaafu n’obutabeera na mazzi mayonjo  babugaanye essanyu, bweguguddwawo guddemu okukola. Ekiragiro okugulawo omwalo kivudde mu ministry yobyobuvubi wabula nga bataddewo obukwakulizo ku ntambuza yemirimu ku mwalo guno. Avunanyizibwa ku by’emirimu n’enkulaakulana ku disitulikiti ye Mukono Dr.Fred […]

Musisi yegaanye eby’okugaba ettaka- aba Taxi bakusasula

Ali Mivule

August 13th, 2015

No comments

Akulira ekitongole kya Kampala Capital City Aithority Jennifer Musisi yeeganye ebigambibwa nti yalina omukono mu kuwaayo ettaka ly’essomero lya Nabagereka Primary school eri bamusiga nsimbi. Ng’awa alipoota ye ey’emyaka 4, Musisi ategeezezza nga KCCA bw’ekola ekisoboka okunonyereza ku nsonga eno. Anyonyodde nga ettaka lino bweryawebwaayo […]