Amawulire

Jjajja wa Nabagereka aziikiddwa

Ali Mivule

August 14th, 2015

No comments

Nasiisi w’omuntu yeeyetabye mu kuziika abadde jjajja wa Nabagereka Maama Nagginda wali e Nkumba. Nelson Edmund Ssebuggwaawo yafa ku lunaku lwa ssande ng’aweza emyaka 103 era ng’alese abaana 25 n’abazzukulu 184. Ng’ayogerako eri abakungubazi, maama Nagginda atenderezza omugenzi gw’ayise omusomesa ng’agamba nti yeeyamusomesa empisa era […]

Emivuyo mu UNRA- munnamateeka agobeddwa

Ali Mivule

August 14th, 2015

No comments

Waliwo munnamateeka agobeddwa mu kakiiko akanonyereza ku mivuyo mu kitongole ky’enguudo, lwakugezaako kulagirira omujulizi engeri gyebaddamu ebibuuzo. Allan Mulindwa y’agobeddwa, akulira akakiiko kano omulamuzi Catherine Bamugemereire, oluvanyuma lw’okumulabula nga tawulira. Mulindwa abadde agenze kuwolereza Richard Ssempagala, eyalagiddwa okukeberebwa endaga butonde. Wabula oluvanyuma Ssempagala ategeezezza akakiiko […]

Abakozi balemeddeko

Ali Mivule

August 14th, 2015

No comments

Abakozi abatali basomesa mu matendekero agawaggulu, okuli Makerere, Mbabara ne MUBs e Nakawa bagaanye okudda ku mirimu okutuusa nga gavumenti emaze okubongeza emisaala. Mu lukiiko wakati wa gavumenti n’abakulira abakozi bano, gavumenti yabadde esuubizza okwongera abakozi bano omusaala mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja,kyokka abakozi bwebaatudde bonna […]

Asuddewo omwana n’agenda okulaaya

Ali Mivule

August 14th, 2015

No comments

Poliisi  ye Kawaala eggalidde omuwala eyasudde omwana ku mizigo n’agenda okwetunda. Sharon Najjemba ow’e Kawaala Zooni 2 yakwatiddwa poliisi ye Kawaala oluvannyuma lwa baliraanwa be okugenda ku poliisi n’omwana ono gwe bagambye nti yamusudde obudde bukya. Najjemba okukwatibwa kiddiridde omu ku batuuze be Kawaala okumusanga […]

Poliisi eremesezza Lukwago ne Bukenya

Ali Mivule

August 14th, 2015

No comments

Poliisi ekozesezza eryaanyi okulemesa loodimeeya wa Kampala Erias Lukwago okwetaba mu musomo ogubadde gutegekeddwa mu ttendekero e Makerere. Lukwagho bamuggalidde ku geeti ye Makerere ku biragiro by’atwala poliisi ye Wandegeya Brian Ampirwe. Mu kusooka omumyuka w’omumyuka wa ssenkulu akola ku by’ensimbi Barnabus Nawangwe yawandiikidde abategese […]

Besigye akyaleebya Muntu

Ali Mivule

August 14th, 2015

No comments

Okunonyereza okuggya okukoleddwa kulaga nti Dr Kiiza Besigye akyaleebya Gen Mugisha Muntu mu mpaka z’ani anakwata bendera y’ekibiina Okunonyereza kuno okukoleddwa aba Research world International eraze nti Besigye akulembedde Muntu n’ebitundu 86% ate nga yye Muntu alina ebitundu 14% Akulira ekibiina kino Dr Patrick Wakida […]

Muhammadu Buhari awadde amagye nsalensale ku Boko Haram.

Muhammadu Buhari awadde amagye nsalensale ku Boko Haram.

rmuyimba

August 14th, 2015

No comments

Omukulembeze w’eggwanga lya Nigeria Muhammadu Buhari awadde abaduumizi b’amagye ge emyezi esatu gyokka okuba nga bamaze okufufugaza abakambwe ba Boko Haram. Nsalesale ono amuwadde alayiz abaduumizi bano abapya beyalonda omwezi oguwedde. Abakadde Bukhari yabagoba bweyategeeza nti emirimu gyali gibalemye.

KCCA bataddewo amateeka amakakali ku by’okutimba ebipande.

KCCA bataddewo amateeka amakakali ku by’okutimba ebipande.

rmuyimba

August 14th, 2015

No comments

  Nga akalulu ka 2016 kakubye kkoodi, ab’ekitongole kya KCCA bataddewo amateeka amakakali ku by’okutimba ebipande. Akulira ekitongole kino Jennifer Musisi agamba teri kukkiriza Muntu yenna kutimba kipande nga tafunye lukusa nga bangi bajamawaza ekibuga. Musisi agamba balabudde buli gwekikwatako nga okusooka baalabudde aba NRM […]

Okunonyereeza kumivuyo ku Entebbe express highway

Okunonyereeza kumivuyo ku Entebbe express highway

rmuyimba

August 14th, 2015

No comments

Akakiiko akanonyereza ku mivuyo mu kitongole ky’ebyenguudo kalagidde abantu basatu abaliyirirwa mu kuzimba oluguudo lwa Entebeb Express Highway oluyita mu ttaka lyabwe bakeberebwe endaga butonde mu nkola ya DNA. Muhammed Kamoga, Hussain Mugumya ne Richard Ssempagala bonna abatuuze be Nakigalala bategezezza akakiiko nti tebajjukira linya […]

Democratic Alliance  ku kulonda mu 2016.

Democratic Alliance ku kulonda mu 2016.

rmuyimba

August 14th, 2015

No comments

    Ab’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumanti ogwa Democratic Alliance gukkiriziganyizza ku ngeri gyebagenda okulonda agenda okubakwatira bendera mu kalulu ka 2016. Ssentebe w’omukago guno Prof Fredrick Ssempebwa agamba essaawa yonna abakulembera omukago guno bakutegeeza ebibiina ne bannayuganda ku kyebasazewo. Ssempebwa agamba enteekateeka eno yakuteekawo […]