Amawulire

Jimmy Rwamafa atuuse ku kooti ewozesa abalyaake

Jimmy Rwamafa atuuse ku kooti ewozesa abalyaake

rmuyimba

August 19th, 2015

No comments

Eyali omuwandiisi mu ow’enkalakalira mu ministry evunanyizibwa kunsonga z’abakozi Jimmy Rwamafa atuuse ku kooti ewozesa abalyaake, okuddamu okuvunanibwa emisango gy’obukenuzi. Lwamafa avunanibwa omusango gw’okubulankanya ensimbi obuwumbi 88 okuva mu kitongole ekitereka ensimbi z’abakozi ekya NSSF. Kino kyadirira kooti okuddamu okuyitta Rwamafa, eyali omubalirizi w’ebitabo mu […]

Embizzi zisuridwa ku luguudo lwa parliamentary avenue

Embizzi zisuridwa ku luguudo lwa parliamentary avenue

rmuyimba

August 19th, 2015

No comments

  Waliwo abavubuka abatanategerekeka abasudde obubizzi obusiigiddwa langi eya kyenvu ku luguudo lwa parliamentary avenue okuliraana olukiiko lw’eggwanga olukulu. Obubiizi buno bubaddeko ebigambo ebisaba enongosereza ezanamaddala mu mateeka agafuga eby’okulonda ne Ssemateeka. Wabula poliisi esobodde okujja bunambiro nekwaata obubizzi buno nga tebunayingira paliyamenti. Kinajukirwa nti […]

Okulonda kwa 2016

Okulonda kwa 2016

rmuyimba

August 19th, 2015

No comments

Akakiiko k’ebyokulonda kataddewo okuva nga 27 omwezi guno okutuuka nga 10 omwezi ogujja okuwandiika abagala okwesimbawo okukulmbera abavubuka,abalema n’abakadde ku byalo. Omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Jotham Talemwa agambye nti bano bakufuna empapula z’okwewandiisa okuva mu bitebe bya Amagombolola. Talemwa asabye bana uganda okutwala okulonda kuno ngakukulu, […]

Enyonyi y’eggwanga lya Indonesia ezulidwa

Enyonyi y’eggwanga lya Indonesia ezulidwa

rmuyimba

August 18th, 2015

No comments

Enyonyi y’eggwanga lya Indonesia eyabuze ennaku 2 eziyise esangiddwa nga yonna y’aweddewo oluvanyuma lw’okutomera olusozi. Abaddukirize abasoba mu 70 batuuse kikerezi olw’ekibiri webabadde balina okuyita n’embeera y’obudde embi.   Abaabadde ku nyonyi eno bonna 54 baafudde nga era gitwaliddwa okuzuula bananyini gyo kubanga gyonna gyasiridde. […]

NRM bemulugunyizza ku banaabwe abali mu gavumenti

NRM bemulugunyizza ku banaabwe abali mu gavumenti

rmuyimba

August 18th, 2015

No comments

Mu disitulikiti ye Namutumba abegwanyiza ebifo eby’enjawulo mu kibiina kya NRM bemulugunyizza ku banaabwe abali mu gavumenti abakozesa emmotoka za gavumenti okunonya akalulu nga betegekera akamyufu. Bano banokoddeyo sipiika wa disitulikiti George Damba nga omu ku bakola kino. Abubakar Kirunda reports

Enjala eyongedde okuzingako ab’e Karamoja

Enjala eyongedde okuzingako ab’e Karamoja

rmuyimba

August 18th, 2015

No comments

Enjala eyongedde okuzingako ab’e Karamoja nga kati ebikumi n’ebikumi by’abatuuze basaze ensalo okwesogga eggwanga lya Kenya okufuna kyebazza eri eri omumwa. Amaka agasoba mu mitwalo 50,000 gerya nkuta olw’ebbula ly’emmere erivudde ku kyeya nga n’ebimera ebisinga byakala dda. Meeya wa Kaabong town Council Gabriel Loiki […]

Sam Kutesa ayambalidde  Amama Mbabazi

Sam Kutesa ayambalidde Amama Mbabazi

rmuyimba

August 18th, 2015

No comments

Minisita w’ensonga z’amawanga g’ebweru Sam Kutesa ayambalidde eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi nga bw’ali omunanfuusi era omuli w’enkwe awedde emirimu. Kuteesa okwogera bino nga Mbabazi kyaggye eggyeyo foomu z’okusunsulibwa okwesimbawo ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga. Bino Kuteesa abyogeredde mu lukungaana lwakubye mu gombolola ye Lugusuula gy’abadde […]

Maj. Gen Julius Oketta awolerezza  Museveni

Maj. Gen Julius Oketta awolerezza Museveni

rmuyimba

August 18th, 2015

No comments

Omu ku bakiikirira amagye ga UPDF mu palamenti Maj. Gen Julius Oketta awolerezza omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni ku bamukolokota nti aludde mu buyinza. Oketta agamba pulezidenti Museveni akyetegereza engeri gy’agenda okuwaayo obuyinza eri omujiji omuto. Nga ayogerako eri ba kaada abasoba mu 500 ku ssomero […]

Prawit Wongsuwan ayogeedde ku batezze boomu

Prawit Wongsuwan ayogeedde ku batezze boomu

rmuyimba

August 18th, 2015

No comments

Minisita w’ebyokwerinda mu ggwanga lya Thailand ategezezza nga abateze bbomu mu ssinzizo mu kibuga Bangkok bwebabadde balubirira okutta abagwira okuzingamya eby’obulambuzi by’eggwanga. Prawit Wongsuwan aweze nga bwebagenda okuyigga abaakoze obulumbaganyi buno omwafiiridde abantu 21 n’abalala abasoba mu 120 nebabuuka n’ebisago ebyamanyi. Yekaalo ya Erawan Shrine […]

Ogwa bateega boomu gudamu leero

Ogwa bateega boomu gudamu leero

rmuyimba

August 18th, 2015

No comments

Omusango gw’abateberezebwa okutega bbomu mu 2010 nebatta abasoba mu 70 guddamu okuwulirwa olwaleero mu kkooti enkulu mu maaso g’omulamuzi Alfonse Owiny Dollo. Oludda oluwaabi lusuubirwa olwaleero okuleeta omu ku banonyereza ku musango guno okuva mu minisitule y’ebyokwerinda Robinson Rogers Namara awe obujulizi bwe. Abajulizi 30 […]