Amawulire

Obulumbaganyi e`Nigeria

Obulumbaganyi e`Nigeria

Bernard Kateregga

August 24th, 2015

No comments

Abateberezebwa okubeera abakambwe ba boko Haram bazindukkirizza oluseregende lw’emmotoka z’amagye okubadde ne ssabadumizi w’amagye ga Nigeria. Mu kulwanagana omujaasi omu yeyatiddwa sso nga bannalukalala 5 nabo tebalutonze. Gen Tukur Buratai y’alondebwa ku kifo kya ssabadumizi w’amagye mu July oluvanyuma lwa gweyaddira mu bigere okukwatibwa ku […]

Olukiiko olugatta amawanga ga East Africa lulaze okutya

Olukiiko olugatta amawanga ga East Africa lulaze okutya

Bernard Kateregga

August 24th, 2015

No comments

Olukiiko olugatta amawanga ga East Africa lulaze okutya olw’endoliito mu kusubulagana sukaali wakati wa Uganda ne Kenya. Kino kijidde mu kiseera nga waliwo bannabyabufuzi abaagala okulinya eggere mu ndagaano eyatekebwako emikono omukulembze w’eggwanga lya Kenya Uhuru Kenyatta n’owa Uganda Yoweri Museveni okukkiriza sukaali wa Uganda […]

Abatabereza okutemako ssengawe omutwe nebamutta.

Abatabereza okutemako ssengawe omutwe nebamutta.

Bernard Kateregga

August 24th, 2015

No comments

Abatuuze mu disitulikiti ye Isingiro bakkakanye ku musajja gwebatabereza okutemako ssengawe omutwe n’okutta omwana wa mugandawe omulala nebamutta. Omusajja ono ategerekese nga Turyahabwa nga bamulumiriza okutta ssenga we Namatanza Susan ow’emyaka 55. Abatuuze bagamba nti Namatanze y’atiddwa agezaako kutaasa muzzukulu we ow’emyaka 13 ategerekese nga […]

E Kyambogo bandilowooza ku ky’okwongezaayo olusoma

E Kyambogo bandilowooza ku ky’okwongezaayo olusoma

Bernard Kateregga

August 24th, 2015

No comments

Nga abayizi mu matendekero ga gavumenti kyebaggye baddemu mu lusoma olupya, bbo abakulira ettendekero ly’e Kyambogo bandilowooza ku ky’okwongezaayo olusoma luno. Abayizi bakafiirwa ssabbiiti 2 nga tebasoma olw’abakozi abatali basomesa okwediima nga baagala okwongezebwa omusaala naye nga kati bazze mulimu. Amyuka ssenkulu w’ettendekero lino Prof […]

Muruli Mukasa awadde abakadde amagezi

Muruli Mukasa awadde abakadde amagezi

Bernard Kateregga

August 24th, 2015

No comments

Minisita w’ekikula ky’abantu Muruli Mukasa awadde abakadde amagezi obutatunda kalulu kaabwe eri bannabyabufuzi bannakigwanyizi. Mukasa agamba nga okulonda kwa 2016 kukubye kkoodi, bannabyabufuzi bangi batandise okugulirira abantu nga abakadde abakyala n’abavubuka okubawagira. Wabula awadde abakadde amagezi bawagire abo bebalabamu omulamwa.

Obunkenke buzzemu wakati w’amawanga ga Korea

Obunkenke buzzemu wakati w’amawanga ga Korea

rmuyimba

August 21st, 2015

No comments

Obunkenke buzzemu wakati w’amawanga ga Korea gombi. Omukulembeze w’eggwanga lya North Korea Kim Jong-un alagidde amagye ge ku nsalo eyawula eggwanga lye n’erya South Korea okwetegekera olutalo n’eggwanga lya South Korea. Kim agamba okugyako nga South Korea ekomezza okubaketta ku nsalo yaabwe bakubasesebbula. Bbo abantu […]

Faaza Soroti agezezaako okweta

Faaza Soroti agezezaako okweta

rmuyimba

August 21st, 2015

No comments

Faaza mu kigo kye Soroti agezezaako okweta lwamusajja azzenga akubira muganzi we amassimu agatatadde nga amukwana. Musajja wakatonda ono Fr. Deogracious Opio, addusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Soroti nga ali mu mbeera mbi n’akambe akagambibwa nti keyakozesezza okwesalasala. Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Juma […]

Kahinda Otafire alabudde ku busosoze

Kahinda Otafire alabudde ku busosoze

rmuyimba

August 21st, 2015

No comments

  Ye minisita w’ensonga za ssemateeka Kahinda Otafire alabudde ekibiina okwewalira ddala obusosoze mu kulonda abaddukanaya ekibiina. Otafire agamba buli Muntu Alina okuyisibwa obulungi awatali kusosola mu myaka. Agamba abamu ku bannakibiina abakadde bakyalina kinene kyebasobola okugasa ekibiina kale nga basanye okuweebwa omukisa okugenda mu […]

NRM olwaleero lwekitimbye enkalala

NRM olwaleero lwekitimbye enkalala

rmuyimba

August 21st, 2015

No comments

Ekibiina kya NRM olwaleero lwekitimbye enkalala z’abanakibiina kyayo ku byalo byonna okwetolola eggwanga. Omuwanika w’ekibiina Rose Namayanja ategezezza nga bwebagenda n’okuwandiisa abayizi mu masomero abalina emyaka 18 n’okudda waggulu. Namayanja agamba okutimba enkalala kigendereddwamu kuzilongoosa okugyamu abaafa n’abo abatali bannakibiina ssaako n’abo abayabulira ekibiina nebegatta […]

Democratic Alliance  bafulumizza enteekateka yo kulonda anabakwatira bendera

Democratic Alliance bafulumizza enteekateka yo kulonda anabakwatira bendera

rmuyimba

August 20th, 2015

No comments

Ab’omukago ogugatta ebibiina ebivuganya gavumenti ogwa Democratic Alliance kyadaaki bafulumizza enteekateka egenda okugobererwa mu kulonda anabakwatira omukgo guno bendera mu kulonda kwamwaka ogugya , nga bino birangirudwa omwogezi w’omukago guno Wafula Oguttu Okusinziira ku nteekateka zino, bano baakulangirira agenda okubakwatira bendera nga 14 September, era […]