Amawulire

Olukiiko olugatta amawanga ga East Africa lulaze okutya

Olukiiko olugatta amawanga ga East Africa lulaze okutya

Bernard Kateregga

August 24th, 2015

No comments

File Photo: Abakiise mu Lukiiko lwa East Africa

File Photo: Abakiise mu Lukiiko lwa East Africa

Olukiiko olugatta amawanga ga East Africa lulaze okutya olw’endoliito mu kusubulagana sukaali wakati wa Uganda ne Kenya.

Kino kijidde mu kiseera nga waliwo bannabyabufuzi abaagala okulinya eggere mu ndagaano eyatekebwako emikono omukulembze w’eggwanga lya Kenya Uhuru Kenyatta n’owa Uganda Yoweri Museveni okukkiriza sukaali wa Uganda okutundibwa e Kenya.

Omu ku bakiise mu lukiiko luno Bernard Mulengani agamba ensonga eno esaana okukolebwako nga bukyali kale nga bandivaayo n’akakiiko okugitunulamu.