Amawulire

Obunkenke buzzemu wakati w’amawanga ga Korea

Obunkenke buzzemu wakati w’amawanga ga Korea

rmuyimba

August 21st, 2015

No comments

File Photo: Tanka ya North Korea emwanyi

File Photo: Tanka ya North Korea emwanyi

Obunkenke buzzemu wakati w’amawanga ga Korea gombi.
Omukulembeze w’eggwanga lya North Korea Kim Jong-un alagidde amagye ge ku nsalo eyawula eggwanga lye n’erya South Korea okwetegekera olutalo n’eggwanga lya South Korea.
Kim agamba okugyako nga South Korea ekomezza okubaketta ku nsalo yaabwe bakubasesebbula.
Bbo abantu abali okumpi baatandise dda okwetegula nga era amaka agasinga kati Makalu.
North Korea ewadde South Korea essaawa 48 zokka nga bagyewo ebyuma byabwe ebikessi nga wezigwerako nga mpaawo kikoleddwa zinadda okunywa.
Okulaga nba bwebatatidde, South Korea nayo etandise okugezesa ku mizinga gyayo.