Amawulire
Akabenje kasse 3
Abantu basatu beebafiiridde mu kabenje akagudde ku kibira kye Mpanga mu disitulikiti ye Mpigi Taxi namba UAW 975Q ebadde egenda e Bushenyi ekonaganye ne Kanta namba UAT 230Z ebadde edda e Kampala. Abafudde babadde mu taxi ate ng’abalala 11 baddusiddwa mu ddwaliro nga biwala […]
Enongosereza mu mateeka- ababaka bekandazze
Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti bekandazze nebafuluma palamenti nga bawakanya eky’okulonda ku nongosereza mu ssemateeka. Kiddiridde amyuka sipiika Jacob Olanya okugaana abavuganya abakulembeddwaamu omubaka Muwanga Kivumbi okwanja alipoota gyebakoze ku nongosereza mu mateeka Ababaka bagambye nti kino kikyaamu kubanga tebakkiririza mu nongosereza gavumenti zeyaleese […]
Okuwanika enkalala kuwedde
Okuwanika enkalala z’abalonzi kukomekkerezeddwa. Abamu ku bajjibwa mu nkalala beebatali bannayuganda, abaafa, abataweza myaka 18 kko n’abo abali ku nkalala omulundi ogusukka mu gumu. Kati amannya gonna aganaaba gasongeddwaako gakuwanikibwa ku nkalala okumala ennaku 11 okwongera okwetegerezebwa olwo gasangulwe mu butongole. Omwogezi w’akakiiko akalondesa Jotham […]
Pulezidenti ayimirizza omusolo eri aba Taxi
Pulezidenti Museveni ayimirizza ekya bagoba ba taxi okusasula omusolo buli mwezi. Pulezidenti bino abirangiridde mu lukiiko n’abagoba ba taxi mu Kampala abasoba mu 2000 ng’agamba nti kuno kunyunyunta ba taxi bano. Ssentebe w’abagoba ba taxi mu Kampala Mustapha Mayambala agambye nti pulezidenti era abawadde amagezi […]
Eyasuula omwana mu tooyi esibiddwa myezi etaano
Omukyala eyasuula omwana gweyali azadde mu kabuyonjo asibiddwa emyaka etaano. Scovia Atai ow’emyaka 20 alabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti ya Joan Aciro era n’akkiriza emisango. Atai eyali abeera ku kkanisa e Masanafu kigambibwa okuba olubuto bwerwamuluma yekweeka emabega wa kabuyonjo olwo […]
Abayisiraamu balwanidde ku kkooti
Poliisi ekkakkanya obujagalalo ekubye amasasi mu bbanga ne ttiygaasi okugugumbulula abayisiraamu ababadde batandise okulwanira ku kkooti e Jjinja. Abayisiraamu ababadde balwana beeba tabuliiki n’aba Shia era nga bino okubaawo ng’abagambibwa okubeera abayekeera ba ADF balabiseeko mu kkooti Bano babadde bakulembeddwaamu akulira abayekeera bano Jamil Mukulu. […]
Abanyala bagaanye okuwandiisibwa
Abakulembeze b’abanyala mu disitulikiti ye Kayunga basimbudde ekkuuli enteekateeka ya Buganda okuwandiisa abo bonna abali ku bibanja Ssabanyala Baker Kimeze agambye nti kino kimenya mateeka era kigendereddwaamu kukamula bantu be kyataggya kukkiriza Ekitongole kya Buganda eky’ettaka ekya Buganda Land Board kyabadde kitandise okusomesa abantu ku […]
Omutaka Sebuggwaawo aziikibwa lwa kutaano
Akakiiko akatekeddwaawo Obwakabaka bwa Buganda okukola ku kuziika omutaka Nelson Ssebugwawo kafulumiza enteekateeka. Okusinzira ku mwogezi wa Buganda, omubiri gw’omugenzi gwakujjibwa mu ddwaliro e Mulago ku lw’okuna luno gutwalibwa mu kkanisa ya St Lukka e Nkumba gusabirwe n’oluvanyuma gutwalibwa mu maka ge. Ku lunaku lw’okutaano […]
Abayizi be Kyambogo baayingizibwa mu mankweetu
Akakiiko ka palamenti akalondoola ensasanya y’omuwi w’omusolo kakunyizza abakungu okuva mu ttendekero ly’e Kyambogo ku by’okuwandiisa abayizi mungeri eyamwankwetu. Okusinziira ku alipoota ya ssababalirizi w’ebitabo bya gavumenti eya 2014, abayizi 14,086 bayita mu kamooli okwegatta ku ttendekero lino. Kino kyafiiriza ettendekero obukadde 532 ezaali zirina […]
Aba NRM bazzizzaayo foomu
Abaagala okwesimbawo ku tikiti y’ekibiina kya NRM batandise okuzzayo foomu z’okwesimbawo mu kamyufu wali ku kitebe ky’ekibiina e Kyadondo. Abamu ku bazizzaayo empapula z’okwesimbawo kuliko amyuka ssabaminisita w’eggwanga owokubiri Moses Ali, minisita omubeezi ow’ebyensimbi nebamusiga nsimbi Gabriel Ajedra ssaako n’ayagala obwassentebe bw’ekibiina kya NRM mu […]