Amawulire
Abayisiraamu balwanidde ku kkooti
Poliisi ekkakkanya obujagalalo ekubye amasasi mu bbanga ne ttiygaasi okugugumbulula abayisiraamu ababadde batandise okulwanira ku kkooti e Jjinja.
Abayisiraamu ababadde balwana beeba tabuliiki n’aba Shia era nga bino okubaawo ng’abagambibwa okubeera abayekeera ba ADF balabiseeko mu kkooti
Bano babadde bakulembeddwaamu akulira abayekeera bano Jamil Mukulu.
Bavunaanibwa misango gyekuusa ku kuttibwa kw aba maseeka mu ggwanga okuli ne Sheikh Dr Abdul Kadhir Muwaya.
Aduumira poliisi ye Jinja Apollo Kateeba agambye nti obuzibu bwonna kuvudde ku bakulembeze b’aba shia okutandika okuweereza abatabuliiko ebigambo olwo nebabalumba.
Kateeba agambye nti abantu babiri bakwatiddwa mu kavuyo kano.
Bannamawulire nate bagaaniddwa mu kkooti ng’abantu bano abagambibwa okubeera abayekeera bawozesebwa