Amawulire

Abanyala bagaanye okuwandiisibwa

Abanyala bagaanye okuwandiisibwa

Ali Mivule

August 11th, 2015

No comments

File Photo: Kimeze ngali ne Museveni

File Photo: Kimeze ngali ne Museveni

Abakulembeze b’abanyala mu disitulikiti ye Kayunga basimbudde ekkuuli enteekateeka ya Buganda okuwandiisa abo bonna abali ku bibanja

Ssabanyala Baker Kimeze agambye nti kino kimenya mateeka era kigendereddwaamu kukamula bantu be kyataggya kukkiriza

Ekitongole kya Buganda eky’ettaka ekya Buganda Land Board kyabadde kitandise okusomesa abantu ku kalungi akali mu kwewandiisa eri abo bonna abali ku bibanja

Mengo yategeeza ntie nteekateeka eno yakuyita mu masaza ga Buganda gonna 18 okuli Bugerere  ne Buluuli

Wabula yye omwogezi wa Buganda owek Denis Walusimbi Ssengendo bano abasekeredde ng’agamba nti oba bagaala oba nedda, enteeekateeka yakugenda mu maaso.