Amawulire

Enongosereza mu mateeka- ababaka bekandazze

Enongosereza mu mateeka- ababaka bekandazze

Ali Mivule

August 11th, 2015

No comments

File Photo: Ababaka ba palimenti nga bavudde mu mbeera

File Photo: Ababaka ba palimenti nga bavudde mu mbeera

Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti bekandazze nebafuluma palamenti nga bawakanya eky’okulonda ku nongosereza mu ssemateeka.

Kiddiridde amyuka sipiika Jacob Olanya okugaana abavuganya abakulembeddwaamu omubaka Muwanga Kivumbi okwanja alipoota gyebakoze ku nongosereza mu mateeka

Ababaka bagambye nti kino kikyaamu kubanga tebakkiririza mu nongosereza gavumenti zeyaleese okuli n’ezikwata ku kulonda.

Ababaka okubadde Wafula Oguttu , Ken Lukyamuzi, ne Joseph Sewungu bategeezezza nti kuno kubadde kuyisa maaso mu bavuganya.

Enongosereza zino kati zitwaliddwa mu kakiiko akakola ku by’amateeka okukubaganyaako ebirowoozo