Amawulire

Abayizi be Kyambogo baayingizibwa mu mankweetu

Abayizi be Kyambogo baayingizibwa mu mankweetu

Ali Mivule

August 11th, 2015

No comments

Parliament in session

File Photo: Ababaka ba palimenti mu lutuura

Akakiiko ka palamenti akalondoola ensasanya y’omuwi w’omusolo kakunyizza abakungu okuva mu ttendekero ly’e Kyambogo ku by’okuwandiisa abayizi mungeri eyamwankwetu.

Okusinziira ku alipoota ya ssababalirizi w’ebitabo bya gavumenti eya 2014, abayizi 14,086 bayita mu kamooli okwegatta ku ttendekero lino.

Kino kyafiiriza ettendekero obukadde 532 ezaali zirina okuva mu misoso gy’okuwandiisa abayizi bano ne fiizi.

Nga yewozaako, baasa w’ettendekero lino  Ham Mungyereza akkirizza nga abayizi abamu bwebawandikibwa nga tebasabye bifo olw;enkola y’omuntu okuwandiisa omuyizi buterevu ekozesebwa.

Agamba batandise okunonyereza ku nsonga eno okusobola okugolola ensobi zonna.

Wabula ssentebe w’akakiiko kano Paul Mwiru agamba kino kyandiba nga kyali kigenderere kale nga kisaana okunonyerezebwako enyo.