Amawulire

NRM efe ku bakyala- Kabanda

Ali Mivule

August 1st, 2015

No comments

Abakulembeze mu kibiina kya NRM basabiddwa okulaba nga bannakibiina bakiikirirwa kyenkanyi naddala ku lukiiko olw’okuntiko mu kibiina.

Omubaka wa pulezidenti mu Kampala era nga yesimbyewo ku bu myuka bwa Ssentebe w’ekibiina kya NRM mu Buganda Aisha Kabanda agambye nti abakyala tebafunye kukiikirirwa kumala naddala ku lukiiko olufuzi olw’ekibiina kya NRM.

Kabanda agambye nti kivuddeko ensonga z’abakyala obutakolwako kyenkanyi mu kibiina kya NRM.

Bannakibiina kya NRM bakulonda abakulembeze baabwe abajja e Namboole mu mwezi gw’ekkumi.