Amawulire
Besigye asimattuse akabenje
Eyali Ssenkagale wa FDC Dr Kiiza Besigye asumattuse akabenje bw’abadde agenda e Hoima okuwenja obululu okuva mu bannakibiina kya FDC.
Akabenje kano akafunidde Kyankwanzi omupiira gw’emmotoka ye negusiriira.
Besigye abadde atambulira mu motoka ekika kya Land cruiser namba UAN 661V era agamba nti akabenja kano kandiba nga kavudde ku biragala poliisi byeyafuyira emupiira g’emotoka ye bweyali emukwata e Nakivubo.
Wabula amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga Polly Namaye asambazze ebyogerwa Besigye.
Namaye agambye nti Besigye, yandisoose kwekebejja motooka ye nga tanaba kusimbula kugenda ku lugendo mu kifo ky’okunenya poliisi.