Amawulire

Byandala bamukutte bubi- Minisita

Byandala bamukutte bubi- Minisita

Ali Mivule

July 30th, 2015

No comments

File Photo: Minister we bye mirimu ne nguudo

File Photo: Minister we bye mirimu ne nguudo

Minisita w’eby’enguudo  n’entambula Eng John Byabagambi kyaddaaki avuddemu omwaasi ku kukwatibwa kwa munne gweyaddira mu bigere Abraham Byandala.

Byabagambi agambye nti yadde nga Byandaala ayinza okuba ng’alina omusango, kyabadde kikyaamu okumala gamukwata nga sipiika wa palamenti tategezeddwa yadde omukulembeze w’eggwanga amulinako obuvunaanyizibwa nga minisita

Byabagambi agamba nti Byandala ayinza okuba nga yakola nsobi okussa omukono ku kiwandiiko ekigaba kontulakiti y’oluguudo lwe Mukono kyokka yakikola mu mutima mulungi ng’ayagala emirimu gikolebwe

Byandaala yakwatibwa ku lw’okubiri n’atwalibwa butereevu mu kkooti era ng’eno omulamuzi yalagira nti agende e Luzira okutuuka nga 11th omwezi ogujja ng’obuzibu bwonna buva ku luguudo lwe Mukono Katosi okutuukira ddala e Kyetume.