Amawulire

Basatu bakwatiddwa

Basatu bakwatiddwa

Ali Mivule

July 30th, 2015

No comments

Poliisi ye  Malongo mu disitulikiti ye  Lwengo eriko abantu 3 bekutte ku by’okutibwa kw’omusajja ow’emyaka 24.

 

Abakwate bategerekese nga Mathias Nsubuga , Robert Kalanda  ne  Flavia Namuddu oluvanyuma lw’omugenzi ategerekese nga Bukenya okutibwa.

 

Okunonyereza okusoose kulaze nga bano bwebasemba okulabibwako n’omugenzi nga omulambo gwe tegunasangibwa nga gugangalamye mu kitaba ky’omusaayi.

 

Omwogezi wa poliisi mu bukiika kkono bw’eggwanga Noah Sserunjogi, bano balondoola Bukenya okuva mu bbaala oluvanyuma lw’okumulaba nga alina ssente era bazudde n’engoye okuli omusaayi ku ngoye z’omu ku mukwate.