Amawulire

Ab’omukago batandise okutabaganya abatalima kambugu

Ab’omukago batandise okutabaganya abatalima kambugu

Ali Mivule

July 30th, 2015

No comments

File Photo: Aba Democratic Party

File Photo: Aba Democratic Party

Ab’omukago gwa The Democratic Alliance batonzeewo akakiiko akagenda okutabaganya ba memba abatalima kambugu mu bibiina ebiri mu mukago guno.

Kino kiddiridde ekibiina kya DP okuyulikamu nga kati waliwo ekibinja kya Loodimeeya Erias Lukwago ekyagala okwesogga omukago n’ekya Norbert Mao nga nakyo kyetaaga okubeera mu mukago.

Akulira omukago guno ssabakenkufu Fredrick Ssempebwa agambye nti akakiiko kano akakulirwa eyali katikkiro wa Buganda owek. Joseph Mulwanyamuli Ssemogerere kalina okutabaganya ba memba okuva mu bibiina ebitali bimu okulaba nti tebayuza mu kibiina.

Mu kadde kano enkiiko eziwera zimaze okutuuzibwa okulaba nti tewabaawo kusika muguwa