Amawulire
Ab’omukago bafunye wofiisi
Ab’omukago gw’abebibiina ebivuganya gavumenti ogwa Democratic alliance bategezezza nga bwebatalubirira kutwala buyinza kyokka, wabula n’okukulembera eggwanga oluvanyuma lw’okulonda kwa 2016.
Kino kibikuddwa ssentebe w’omukago guno Prof. Fredrick Ssempebwa mu kutongoza ofiisi z’omukago wamu n’okutondawo obukiiko obugenda okutambuza omukago guno.
Obumu ku bukiiko buno kuliko akateesiteesi w’amu n’akagenda okubalungamya ku nsonga ez’enjawulo.
Akakiiko akateesiteesi kakulemberwa ssenkulu w’ekibiina kya Jeema Asuman Basalirwa sso nga akagenda okulonda abagenda okwesimbawo kakulemberwa Okello Okello ne Maxensia Takirambule.
Sempebwa asabye abo bonna abakoseddwa omuntu omu gwebagenda okwesimbawo berekereze ebigendererwa byabwe olw’obulungi bw’eggwanga.
Abalala ababaddewo kuliko omuloodi wa Kampala Erias Lukwago,ssenkaggale wa DP Norbert Mao, Dr. Joseph Bbosa owa UPC, Prof Gilbert Bukenya, n’abalala.