Amawulire

Nambooze tamenye mateeka woowe

Nambooze tamenye mateeka woowe

Ali Mivule

January 12th, 2016

No comments

Omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze anokoddwayo nga akulembedde mu besimbyewo okumenya amateeka g’ebyokulonda. Nambooze bamulumiriza okukuba enkungaana ezimenya amateeka n’aggala enguudo, okusussa mu budde obwgerekebwa, okukozesa olulimi oluvuma n’ebirala. Nambooze bamulumirizza mu lukiiko lwa poliisi n’omuntu wabulijjo olukubiriziddwa akulira eby’okulonda e Mukono. Kati […]

Ettoffaali liyimiriziddwa

Ettoffaali liyimiriziddwa

Ali Mivule

January 11th, 2016

No comments

Omulimu gw’okusonda ettofaali mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo gwakuddamu nga okulonda kuwedde. Kino katikkiro akitadde ku bannabyabufuzi abaali basazeewo okukozesa omukisa guno okwefunira ebyabwe. Katikiro wa Buganda Charles Peter ng’alambuza obuganda omulimu gw’okudabirizza enyanja ya Kabaka wegutuuse ategeezezza nga bwebagenda okuddamu mu mwezi ogw’okusatu nga bakutandikira […]

Aba NRM banyonyodde ku kukubaganya  ebirowoozo

Aba NRM banyonyodde ku kukubaganya ebirowoozo

Ali Mivule

January 11th, 2016

No comments

Ab’ekibiina kya NRM bazzeemu okukinogaanya nti omuntu waabwe ssiwakuyimiriza nteekateeka ze ez’okuwenja kalulu mbu yetaba mu kukubaganya birowoozo okutegekeddwa eri abo abagaala okukulembera eggwanga lyattu. Omwogezi w’ekibinja ekinoonyeza pulezidenti Museveni akalulu Mike Sebalu agamba nti akakodyo kaabwe mu kuwenja akalulu kutuukirira bantu era nga kino […]

Ettofaali liyimiriziddwa

Ettofaali liyimiriziddwa

Ali Mivule

January 11th, 2016

No comments

Omulimu gw’okusonda ettofaali mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo gwakuddamu nga okulonda kuwedde. Kino katikkiro akitadde ku bannabyabufuzi abaali basazeewo okukozesa omukisa guno okwefunira ebyabwe. Katikiro wa Buganda Charles Peter ng’alambuza obuganda omulimu gw’okudabirizza enyanja ya Kabaka wegutuuse ategeezezza nga bwebagenda okuddamu mu mwezi ogw’okusatu nga bakutandikira […]

Emivuyo gisusse- Bannakyewa

Emivuyo gisusse- Bannakyewa

Ali Mivule

January 11th, 2016

No comments

Ebibiina byobwanakyewa bisabye bannayuganda okwongera okuvumirira n’okwesamba obuvuyo obugenda mu maaso mu kulonda kuno okubindabinda. Nga ayogerako nebannamawulire akulira omukago ogugatta ebibiina by’obwanakyewa Richard Ssewakiryanga ategezezza nga bwebuli obuvunanayizibwa bwabuli munnayuganda okuvumirira ebikolwa bino. Agamba okulonda okwamazima kuyinza obutasoboka nga obubinja bw’abakubi b’emiggo bwongera okutendekebwa […]

Okutiisatiisa bannamawulire kususse- Alipoota

Okutiisatiisa bannamawulire kususse- Alipoota

Ali Mivule

January 11th, 2016

No comments

Alipoota empya okuva mu kibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya Human Rights Watch eraze nga gavumenti n’ekibiina ekiri mu buyinza bwebatiisatiisa bannamawulire n’abalwanirira eddembe ly’obuntu okukendeeza ku babakolokota. Alipoota eno ey’empapula 48 eraze nga bannayuganda bangi bwebatamanyi nyo bikwata ku byakulonda nga era bannamawulire bakkirizibwa kukwatako […]

Abavubuka babigudde

Abavubuka babigudde

Ali Mivule

January 11th, 2016

No comments

Waliwo ebibinja by’abavubuka 3 ebitiisiza okukolawo akatiisa singa poliisi teleeta mangu akulira eby’okwerinda by’eyesimbyewo ku bwa pulezidenti Amama Mbabazi. Nga boogerako nebamamawulire amakye galeero , ebibinja bino okuli ekya Jobless brotherhood, Sauti ya Vijana, n’aba  Uganda poor Youth movement  bategezezza nga bwebagenda okukunganya emikono gy’abavubuka […]

Asobezza ku muwala we

Asobezza ku muwala we

Ali Mivule

January 11th, 2016

No comments

Poliisi ye Buwama eriko omusajja ow’emyaka 30 gw’ekutte lwakusobya ku muwala we ow’emyaka 8. Vincent Ssentongo nga mutuuze ku kyalo  Bugoma mu bizinga bye Bunjakko yakwatiddwa mu disitulikiti ye Mpigi. Akola ku kunonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi ye Buwama Harriet Nakyambadde agamba ono wakuggulwako […]

Bannamawulire batabuse

Bannamawulire batabuse

Ali Mivule

January 11th, 2016

No comments

Ebibiina ebirwanirira eddembe lyabannamawulire bitiisizza okukuba poliisi mu mbuga z’amateeka lwakwongera kutulugunya bannamawulire nga bakola egyabwe. Olunaku olw’eggulo poliisi ye Moroto y’alumbye bannamawulire nga bakulembeddwamu abatwala George Obio nebonoona ne kamera z’abamu nga owa NTV. Kati omukwanaganya w’ekibiina kya  Human rights Network for journalists Robert […]

Enjovu zisengudde abantu

Enjovu zisengudde abantu

Ali Mivule

January 9th, 2016

No comments

Eggana ly’enjovu amakumi 30 okuva ku mulirwano mu Democratic ya Congo liwalirizza abantu bikumi na bikumi mu okuva mu maka gaabwe mu ggombolola ye  Kihiihi mu distikuliti ye Kanungu . Ssentebbe we ggombolola ye Kihiihi Nelson Natukunda atugambye nti enjovu zibatisizza nga zatandise okwesogga Uganda […]