Amawulire

KCCA lwaki etimbulula ebipande byaffe- abesimbyeewo bakaaba

KCCA lwaki etimbulula ebipande byaffe- abesimbyeewo bakaaba

Ali Mivule

January 7th, 2016

No comments

Ababaka ba palamenti okuva mu Kampala bavuddeyo nebemulugunya ku ngeri ebipande byaabwe gyebitimbululwaamu. Kino kizze nga KCCA ky’ejje yewerere abesimbyeewo ku kumala gatimba bipande nga tabasasudde. Ababaka okubadde Latiff Ssebagala, Moses Kasibante ne John Ssimbwa bagamba nti bakozesa ensimbi mpitirivu okutimba ebipande kyokka nebakeera nga […]

Omuyaga gw’enkyukakyuuka gutuuse- Mbabazi

Omuyaga gw’enkyukakyuuka gutuuse- Mbabazi

Ali Mivule

January 7th, 2016

No comments

Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbabazi agamba nti ebigenda mu maaso mu ggwanga kabonero ka nkukunala nti omuyaga gw’enkyukakyuka gutuuse. Ng’aweja akalulu e Moroto mu bitundu bye Karamoja, Mbabazi agambye nti bingi ebikoleddwa gavumenti ya NRM okumulemesa kyokka nga tajja kuggwaamu maanyi. Agambye nti […]

Abeesimbyeewo ku bukulembeze banasindana

Abeesimbyeewo ku bukulembeze banasindana

Ali Mivule

January 7th, 2016

No comments

Abesimbyeewo bonna ku bukulembeze bw’eggwanga bakakasizza nti bakwetaba mu kukubaganya ebirowoozo okutegekeddwa bannakyeewa. Omukago gwa bannadiini n’olukiiko lw’abakuliridde mu ggwanga beebategese okusindana kuno n’ekigendererwa ky’okuwa bannayuganda akadde okulondako omukulembeze omutuufu. Bano bakulembeddwamu akulira olukiiko omulamuzi James Ogoola agamba nti bamalirizza buli kimu era nga 15 […]

Besigye asanyalazza Mbale

Besigye asanyalazza Mbale

Ali Mivule

January 7th, 2016

No comments

Emirimu gisanyaladde mu tawuni e Mbale oluvanyuma lw’abawagizi b’akwatidde ekibiina kya FDC bendera  Col.Dr Kizza Besigye  okwekeja nga balindirira omuntu waabwe. Besigye ali mu gombolola ye Bugisu gy’ali mu kukuba enkungaana . Abawagizi ba Besigye balabiddwako nga bambadde engoye za langi eya bululu ey’ekibiina kya […]

Omusango gwa Aine guzzeemu mu kkooti

Omusango gwa Aine guzzeemu mu kkooti

Ali Mivule

January 7th, 2016

No comments

Omulamuzi w’eddaala erisooka e Jinja Caroline  Kabugo  Byakutaaga n’atandika okuwulira omusango oguvunanibwa Aine ogw’okukuba abaserikale ba poliisi we Kazimingi mu Jinja omwaka oguwedde. Aine akiikiriddwa bapuliida be okuli Erias  Habakurama, Geoffrey Mangeni  ne Robert Esariat. Habakurama ategezezza kkooti nga bwebatamanyi mayitire ga untu waabwe. Wabula […]

Ab’enganda za Aine bagumbye ku ggwanika

Ab’enganda za Aine bagumbye ku ggwanika

Ali Mivule

January 7th, 2016

No comments

Ab’enganda za Christopher Aine omu ku bakuumi b’eyesimbyewo ku bwa pulezident Amama Mbabazi bagumbye ku ggwanika e Mulago nga bagaala kumanya oba ddala omulambo gw’omuntu gwebaalabye ku mutimbagano Bano bawerekeddwako poliisi nga era bakulembeddwamu omusawo wa gavumenti Dr. Moses Byaruhanga. Wabula omwogezi wa poliisi mu […]

Abayizi beekalakaasizza

Abayizi beekalakaasizza

Ali Mivule

January 7th, 2016

No comments

Abayizi  2 bebakwatiddwa mu kwekalakaasa kw’abayizi b’e Makarere abemulugunya okubula ku nkalala z’abo abagenda okutikirwa. Abayizi abanyikavu okusinga babadde bakola ssomo lya social sciences bagamba amanya gaabwe tegalabikako nga okutikira kusembedde sso nga buli kyetagisa baakimaliriza. Akulembera abayizi ku ttendekero lino David Bala agamba yadde […]

Mbidde awera okuzuula eyatta mukyala we

Mbidde awera okuzuula eyatta mukyala we

Ali Mivule

January 7th, 2016

No comments

Amyuka ssenkaggale w’ekibiina kya DP Fred Mukasa Mbidde  ategezezza nga bweyapangisizza abonyereza ku misango ababe okwegatta ku poliisi okumanya ddala ekyavaako akabenje akatta mukyalawe Suzan Namaganda. Bino Mbidde y’abyasanguzizza mu kutongoza kampeyini za Veronica Nanyondo nga ye muganda w’emugenzi aba DP gwebasimbyewo okumusikira. Mbidde asabye […]

Bwanika asuubizza ebipya

Bwanika asuubizza ebipya

Ali Mivule

January 7th, 2016

No comments

Eyesimbyewo ku bwapulezidenti ku tikiti y’ekibiina kya   People’s development party Presidential Dr. Abed Bwanika asuubizza okuteeka amanyi mu kukola zi tiles okuva mu mayinja enkumu mu bitundu bye Kyenjojo. Bweyabadde akuba olukungaana e Kyenjojo, Bwanika yasabye bamulonde ku bwapulezidenti olwo ateeke ssente mu makolero ga […]

Envunza zirumbye abe Butambala

Ali Mivule

January 7th, 2016

No comments

Abatuuze mu magombolola okuli  Budde ne  Bulo  mu disitulikiti ye Butambala basattira olw’envunza ezibalumbye. Isma Ssebunnya omutuuze ku kyalo  Waduduma village  mu bulo agamba amaka agasoba mu 30 ku byalo okuli Mpanga, Waduduma ne  Kaalo bebakoseddwa okuva mu November w’omwaka oguwedde nga okusinga abaana bebafuuse […]