Amawulire

Masaka municipaali y’esinze mu bigezo by’ekyomusanvu

Masaka municipaali y’esinze mu bigezo by’ekyomusanvu

Ali Mivule

January 12th, 2016

No comments

Municipaali ye Masaka y’enywedde mu municipaali zonna akendo okukola obulungi mu bigezo by’eky’omusanvu ebifulumiziddwa. Municpaali eno eyisizza abayizi abaweza ebitundu 50 ku kikumi mu ddaala erisooka. Masaka eddiriddwa Mukono eyisizza bayizi abaweza ebitundu 39 ku kikumi mu ddaala erisooka ne kuddako Bushenyi ne Mbarara ku […]

Omusirikale yekubye essasi

Omusirikale yekubye essasi

Ali Mivule

January 12th, 2016

No comments

Omusirikale yekubye essasi bw’abadde agezaako okutangira abasibe okutoloka. Costable Muzamiri Abinyu omusirikale ku polisi ye Kabalagala yekubye esaasi mu kugulu bw’abadde aggalira abamu ku bateberezebwa okuba ku kibinja kya bakifeesi ababadde basuza abatuuze be Kabalagala nga batudde. Abinyu agamba okwekuba esaasi abasibe basambye oluggi nebalumenya […]

Atulugunyizza famire ye

Atulugunyizza famire ye

Ali Mivule

January 12th, 2016

No comments

Poliisi e Kanungu ekutte omusajja wa myaka 52 lwakugezaako kulumya ba famire ye. Joshua Tugume omutuuze we Kinyasohera yakubye mukyala we n’abaana babiri okuli ow’emyaka 5 n’omulala wa gumu kitundu Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye kigezi Elly Maate agamba ntiTugume yatabuse oluvanyuma lw’okusanga nga […]

Bwanika wakunazaako abe Kiboga ennaku

Bwanika wakunazaako abe Kiboga ennaku

Ali Mivule

January 12th, 2016

No comments

Akutte bendera y’ekibiina kya PDP ku bukulembeze bw’eggwanga Dr. Abed Bwanika akakasizza abantu be Kiboga nti  kavuna alya obuyinza abe Kiboga ne Kyanykwanzi tebajja kuddamu kujula mu byenjigiriza, mu byobulamu, ebyemirimu n’enguudo. Bwanika bw’abadde ayogerako eri abe Kiboga agambye nti abalimi wakubawa ebikozesebwa okusobola okufunamu […]

Ogwa Aine gwa mwezi guno

Ogwa Aine gwa mwezi guno

Ali Mivule

January 12th, 2016

No comments

Kkooti etaddewo olunaku 27th omwezi guno okutandika okuwulirirako okusaba okwakolebwa b’enganda za Christopher Aine eyabuzibwaawo omwaka oguwedde. Aine nga yeeyali akulira ba kanyama ba Mbabazi yabuzibwaawo nga kati abenganda ze bagaala poliisi emuleete nga mulamu oba nga mufu Omulamuzi ali mu mitambo gy’omusango guno Lydia […]

Mbuga ajjiddwaako emisango

Ali Mivule

January 12th, 2016

No comments

Kkooti e Makindye ejjeewo emisango egibadde givunaanibwa omusuubuzi w’erinnya SK Mbuga nga gino gyakukuba mukyala we Leilah Kayondo. Omulamuzi Richard Mafaabi agambye nti akizudde abagaalana bano baategeragana nga tewakyaali kwemulugunya kwonna. Omulamuzi agambye nti mulimu gwa kkooti okutumbula enkolagana wakati w’abantu ababa batakwatagana mu kifo […]

Tekinologiya ayambye nnyo abayizi okukola obulungi

Ali Mivule

January 12th, 2016

No comments

Minisita w’ebyenjigiriza Jessica Alupo ategezezza nga abayizi okweyongera okwewandiisa  bwekivudde ku nkozesa ya tekinologiya wa compyuta okuwandiisa abayizi bano. Alupo atenderezza nyo enkola ya bonna basome evuddemu abayizi abangi bwebati abayise era n’akubiriza abazadde okwongera okweyunira amasomero gano. Ono avumiridde abazadde abakuumira abaana baabwe ewaka […]

Ebigezo bifulumye, abalenzi basinze abawala, 909 bikwatiddwa

Ali Mivule

January 12th, 2016

No comments

Ebyavudde mu bigezo bya P7 eby’omwaka guno bifulumye nga era abalenzi bakoze bulungi okusinga okusinga ku bawala nga bwegwali mu mwaka gwa 2014. Abayizi  517, 895 bebayise ebigezo by’omwakla guno okusinga ku  516,860 abayita mu 2014. Bw’abadde afulumya ebigezo bino, ssabwandiisi w’ekitongole ky’ebyebigezo ekya UNEB […]

Abasawo bagobeddwa

Abasawo bagobeddwa

Ali Mivule

January 12th, 2016

No comments

Akulira abakozi mu disitulikiti ye Lengo Godffrey Kuruhira ayimirizza abantu 4 lwabyekuusa ku bubbi bw’eddagala. Kuruhira ategezezza nga bwekuliko n’akulira aby’obulamu mu disitulikiti eno Dr Fred Kaye , omubazi w’ebitabo  , Dr Alex Wandera, omusawo we Kyetume Sarah Kabejja, ne  Cissy Nabayinga akuuma sitoowa y’eddagala […]

Abadde avuga eggaali afudde

Abadde avuga eggaali afudde

Ali Mivule

January 12th, 2016

No comments

Entiisa ebutikidde abatuuze be Bugenge mu gombolola ye Mateete e Sembabule oluvanyuma lwa munaabwe okutondoka n’afa nga asotta akagaali kamanyi ga kifuba. Omugenzi ategerekese nga  Kulabirawo 55 nga era ku ggaali abadde aweeseko enkota z’amatooke 2 z’abadde atwala mu katale okuzitunda. Bbo abatuuze bagamba nti […]