Amawulire

Ebigezo bifulumye, abalenzi basinze abawala, 909 bikwatiddwa

Ali Mivule

January 12th, 2016

No comments

Ebyavudde mu bigezo bya P7 eby’omwaka guno bifulumye nga era abalenzi bakoze bulungi okusinga okusinga ku bawala nga bwegwali mu mwaka gwa 2014.

Abayizi  517, 895 bebayise ebigezo by’omwakla guno okusinga ku  516,860 abayita mu 2014.

Bw’abadde afulumya ebigezo bino, ssabwandiisi w’ekitongole ky’ebyebigezo ekya UNEB Mathew Bukenya ategezezza nga okukopa bwekukendedde nga era bakutte ebigezo by’abayizi 909 bokka bw’ogerageranya ku 1344 byebakwata mu 2014.

Ssabwandiisi wa UNEB  Mathew Bukenya agamba okukoppa okukendeela kivudde ku bakalondozi abanji bebayungula okukuuma ebigezo bino.

Abayizi ebigezo byabwe ebyakwatiddwa baknonyerezebwako era bayitibwe bewozeeko.

Bukenya

Oluzungu ne SST g’emasomo agasinze okukolebwa obulungi  olwo okubala nekubagoya.

Abawala bakoze bulungi oluzungu ne SST sso nga abalenzi bwebatuuse ku kubala ne sayansi nebekansa.

Abayizi 621000 bebewandiisa okutuula ebigezo bino nga ku bano 478000 bavudde mu masomero ga bonna basome by’ebitundu 77% sso nga ag’obwananyini bewandiisa 142000.