Amawulire
Mbabazi ali mu kibuga
Munnakisinde kya Go Forward Amama Mbabazi olwaleero kampeyini azileese wano mu Kampala nga era asookedde Kamwokya. Kati Mbabazi ayolekedde mu bitundu bye luzira gy’agenda okukuba olukungaana. Nga avudde e Luzira, Mbabazi wakugenda e Bugoloobi, ayitire e Namuwongo, Kibuli ku Total n’ewalala. Oluvanyuma wakukuba […]
Katuntu azze wa Besigye
Omubaka wa Bugweri county Abdul Katuntu asazewo okukuba enkyukira neyegatta ku akwatidde ekibiina kya FDC bendera Dr Kiiza Besigye oluvanyuma lw’okumukolokota bukyanga bava mu kamyufu omwaka oguwedde. Katuntu asabye abalonzi okuwagira abantu abatakyukakyuka mu byebogera nebyebakola. Nga ali mu mmotoka ya Besigye avuga, Katuntu […]
Bannaddiini baanukudde Museveni ku kukubaganya ebirowoozo
Akakiiko akataba abakulembeze b’amadiini agenjawulo wano mu Uganda kasekeredde pulezidenti Yoweri Museveni olw’okulengezza dibeeti y’abesimbyewo ku bwa pulezidenti gyatetabyemu. Olunaku olw’eggulo bweyabadde ayogerako eri bannamawulire mu makage e Rakitula, pulezidenti Museveni y’ategezezza nga dibeeti eno bw’efanana eyamasomero ga Secondary kale nga teyalabyemu makulu kugyetabamu. […]
Ba kansala batabuse lwa musaala
Ba Kansala mu municipaali ye Masaka besaze akajegere lwakulwawo kusasulwa nsako yaabwe. Ba kansala bano bemulugunyirizza mu lutuula lwa kanso olusokedde ddala omwaka guno nga era lwakubiriziddwa sipiika Stephen Lukyamuzi. Bakansala bano nga bakulembeddwamu amyuka meeya Henry Busulwa, Sulaiman Ssenyonga n’abalala baatadde Town Clerk […]
Omubbi w’embuzi bamwokyezza
Mu disitulikiti ye Mayuge waliwo omubbi w’embuzi gwebokyezza n’abengeya ku kyalo Lugolole. Omusajja ono atanategerekeka alumbiddwa ebbiina ly’abantu nga atambulira ku pikipiki nebamukuba nebamwokya nga kiteberezebwa okuba nti abadde atambuza enyama enzibe. Aduumira poliisi ye Mayuge Denis Odoch agamba ne pikipiki omusajja ono […]
Omutuuze atemuddwa mu bukambwe
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Kirungo e Bukundugulu mu ggombolola y’e Kyegonza mu Gomba bwebasanze mutuuze munnaabwe nga yatemuddwa mu bukambwe. Omugenzi ategeerekese nga Matovu Charles myaka 40 egy’obukulu. Asangiddwa nga yasibiddwa ku muti gw’emmwanyi okumpi n’amakaage ng’alina ebiwundu ebyamanyi ku mubirigwe. Akulira bambega ba […]
Omu poliisi bamusse
Poliisi ye Luweero ebakanye n’okunonyereza ku muserikale waayo eyatiddwa abazigu abatanategerekeka. Obutemu buno bwabadde ku kyalo Lukinzi mu gombolola ye Butuntumula abatemu bwebakkakanye ku muserikale Hussein Sewaka abadde atwala poliisi ye kakinzi nebamukuba amasasi agamusse mu maka ge e Lukinzi. Omwogezi wa poliisi […]
Omuti ogwatemebwa guzzeemu okuyimirira
Enkumi n’enkumi z’abantu bakyeyiwa ku kyalo Katebo mu ggombolola y’e Buwama okwelolera ku muti ogubadde gumaze emyaka 17 nga gwatemebwa kyokka nga kati gwasangiddwa nga gwesimbye guliko n’amatabi n’ebikoola. Abavubi abali okumpi n’omwalo guno bagamba nti omuti guno babadde baguterekako n’ebitimba byabwe kyokka nga bugenze […]
Suruma ayanjuddwa
Ettendekero ekkulu olwaleero lwebayanjula Ezra Suruma ku bw’amyuka ssenkulu w’ettendekero lino . Omwogezi wa Yunivasite ye Makerere Rita Namisango ategezezza nga Suruma bw’agenda okukakasibwa mu butongole amakya galeero ku ssaawa 5 azokumakya. Namisango agamba nga amaze okwanjulwa, Suruma wakukulemberamu amatikira g’ettendekero ag’omulundi ogwe 66 agagendera […]
Basatu bafiiridde mu kabenje
Abantu 3 baafudde n’abalala 7 bali mu mbeera mbi oluvanyuma lw’akabenje akaagudde ku nkulungo ye Kawaala akawungezi akayise. Loole eyabadde ekubyeko ensawo z’amanda y’alemeredde omugoba waayo ku kasozi n’edda emabega neyevulungula enfunda olwo nesabala abaabadde okumpi. Aduumira poliisi ye Kawempe DPC Hashim Kasinga […]