Amawulire

Omuti ogwatemebwa guzzeemu okuyimirira

Ali Mivule

January 18th, 2016

No comments

Enkumi n’enkumi z’abantu bakyeyiwa ku kyalo Katebo mu ggombolola y’e Buwama okwelolera ku muti ogubadde gumaze emyaka 17 nga gwatemebwa kyokka nga kati gwasangiddwa nga gwesimbye guliko n’amatabi n’ebikoola.

Abavubi abali okumpi n’omwalo guno bagamba nti omuti guno babadde baguterekako n’ebitimba byabwe kyokka nga bugenze okukya nga nabyo biri waggulu mu matabi.

Matovu Jacob, omu ku batuuze awanuuza nti gyandiba emisambwa era kati buli agendawo okulaba ku majjankunene atwala amagi g’enkoko, omubisi gw’embidde, ebinusu n’omwenge omuganda.