Amawulire

Miya yakoseddwa

Miya yakoseddwa

Ali Mivule

January 20th, 2016

No comments

Abasawo ba ttiimu y’eggwanga the Cranes bakwekenenya obuvune bw’abazanyi Farouk Miya n’omukwasi wa goolo Ismail Watenga bwebafunye mu mupiira gwa Mali. Omusawo wa ttiimu  Ronald Kisolo agamba bakubekebejja mu ssaawa 48 okulaba oba banasobola okusamba omupiira oguddako ne Zambia ku lwomukaaga. Anyonyola nti Miya y’amumiziddwa […]

Kkolera atagaza abe Mbale

Kkolera atagaza abe Mbale

Ali Mivule

January 20th, 2016

No comments

Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Mbale batiddemu olw’abalwala ekirwadde kya cholera okweyongera buli lukya bukyanga kibalukawo omwaka oguwedde. Kati abakakwatibwa Cholera bali 110. Akulira eby’obulamu ku disitulikiti  Dr Jonathan Wangisi agamba kumpi abantu 4 bebakwatibwa Cholera buli lunaku nga n’abamu bafudde. Cholera y’alumba ekitundu kino nga […]

Abe SSsembabule tebalina mazzi

Abe SSsembabule tebalina mazzi

Ali Mivule

January 20th, 2016

No comments

Abatuuze n’abasuubuzi mu tawuni ye Sembabule bibasobedde olw’ebbula ly’amazzi mu kitundu kyabwe. Abatuuze bekubidde enduulu eri mionisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Sam Kutesa.eyabadde anoonya akalulu k’okuddamu okukiikirira ab’emawogola mu palamenti. Ebitundu ebisinze okukosebwa kuliko Sembabule town council ne  Kikoma nga kati ekidomola ky’amazzi kigula 700. Meeya […]

Mbabaali wakuwoleza bwereere

Mbabaali wakuwoleza bwereere

Ali Mivule

January 20th, 2016

No comments

Eyesimbyewo ku tikiti ya DP ku bwa ssentebe bwa disitulikiti ye Masaka Jude Mbabali asuubizza okuwolerezanga abantu mu kitundu kino mu byamateeka ku bwerere.   Bweyabadde akuba kampeyini mu gombolola ye Mukungwe, Mbabali y’ategezezza nti okuva bwekiri nti munnamateeka, ky’akola akitegeera bulungi nga era y’atnadise […]

Abaana bakola mu birombe

Abaana bakola mu birombe

Ali Mivule

January 19th, 2016

No comments

Ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abantu ekya Amnesty international kirumbye kkampuni ezisima ebyobugagga mu ttaka mu ggwanga lya Democratic republic of Congo olw’okukozesa abaana mu birombe. KKampuni ezirumbiddwa kuliko Apple, Samsung ne Sony. Kigambibwa okuba nti waliwo abaana abato okuli n’ab’emyaka omusanvu abakola mu birombe. Aba Amnesty […]

Omuliro ku Uganda house

Ali Mivule

January 19th, 2016

No comments

Poliisi eyitiddwa bukubirire okuzikiza omuliro ogukutte ekizimbe kya Uganda house Omuliro guno gutandikidde mu kifo awasimba emotoka . Kino kijjeeko amasanyalaze era lifiti zonna nezesiba.   Yye akulembeddemu abaziinya mooto Joseph Mugisa agamba nti omuliro guno guteekwa okuba nga guvudde ku tulansifooma Mugisa wabula agamba […]

Ow’enjaga akwatiddwa

Ali Mivule

January 19th, 2016

No comments

Poliisi ekutte omusajja agambibwa okusasaanya enjaga mu bitundu bye Entebbe. Omukwate ategerekese nga Suleiman Nyombi omutuuze wa Entebbe Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick onyango agamba nti Nyombi aludde mu mulimu guno ng’agiyingiza ne mu bitundu ebirala Ono kati akuumirwa ku poliisi Entebbe nga […]

Nambooze atabuse

Ali Mivule

January 19th, 2016

No comments

Abavuganya gavumenti e Mukono balumbye poliisi olw’okubaamu kyekubiira ng’ekola emirimu gyaayo Bano abakulembeddwaamu omubaka Betty Nambooze n’ayagala obwa meeya George Kagimu bagamba nti abawagizi baabwe bangi bakwatiddwa n’okukubwa mu bukyaamu Nambooze agambye nti kati basazeewo kujeema kubanga nebwebagonda tekikola Nambooze agamba nti ensonga bazitegeezezzaako ab’akakiiko […]

Okukubaganya ebirowoozo kujja

Ali Mivule

January 19th, 2016

No comments

Oluvanyuma lw’okutegeka okukubaganya ebirowoozo eri abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga, ab’akakiiko akagatta bannaddiini batandise okutegeka okukubaganya ebirowoozo. Ngayogerako eri bannamawulire, omulamuzi James Ogoola agambye nti basazeewo okutegeka okukubaganya ebirowoozo okulala kubanga okwasooka kwatambudde bulungi Omulamuzi Ogoola agambye nti batandise okutuukirira abesimbyeewo okumaliriza ku lunaku olupya kyokka […]

Abasomesa tebaggya kujula ku mulembe gwange-Besigye

Ali Mivule

January 19th, 2016

No comments

Akutte bendera ya FDC ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga Dr. Kizza Besigye azzeemu okusuubiza okwongeza abasomesa omusaala ssinga amala n’alya obuyinza. Ng’ayogerako eri abantu e malaba, Besigye agambye nti gavumenti ye era yakufuba okulaba nti embeera abasomesa mwebakolera erongoosebwa basobole okusomesa obulungi. Besigye agamba nti  ku […]