Amawulire

Kkolera atagaza abe Mbale

Kkolera atagaza abe Mbale

Ali Mivule

January 20th, 2016

No comments

File Photo: Omulwadde wa kolera

File Photo: Omulwadde wa kolera

Ab’obuyinza mu disitulikiti ye Mbale batiddemu olw’abalwala ekirwadde kya cholera okweyongera buli lukya bukyanga kibalukawo omwaka oguwedde.

Kati abakakwatibwa Cholera bali 110.

Akulira eby’obulamu ku disitulikiti  Dr Jonathan Wangisi agamba kumpi abantu 4 bebakwatibwa Cholera buli lunaku nga n’abamu bafudde.

Cholera y’alumba ekitundu kino nga 7 December 2015.

Dr Wangisi agamba ebitundu ebisinze okukosebwa kuliko Bunghokho ne Mutoto nga eno abantu 3 bebakafa.

Wabula minisitule y’ebyobulamu etegezezza nga bweyawandikidde dda minisitule y’ebyamazzi okukoma ku batuuze abakozesa amazzi agava mu mugga Manafwa agagambibwa okubeera amakyafu

Omuwandiisi w’enkalakalira  mu minisitule y’ebyobulamu Asuman Lukwago agamba obulwadde buno bwaletebwa abenyumba emu abaava e Busia ne Mbale nga era batandise okusomesa abatuuze ku by’obuyonjo okwewla obulwadde buno.