Amawulire

Mbabaali wakuwoleza bwereere

Mbabaali wakuwoleza bwereere

Ali Mivule

January 20th, 2016

No comments

File Photo: Jude mbabaali nga yoyeera

File Photo: Jude mbabaali nga yoyeera

Eyesimbyewo ku tikiti ya DP ku bwa ssentebe bwa disitulikiti ye Masaka Jude Mbabali asuubizza okuwolerezanga abantu mu kitundu kino mu byamateeka ku bwerere.

 

Bweyabadde akuba kampeyini mu gombolola ye Mukungwe, Mbabali y’ategezezza nti okuva bwekiri nti munnamateeka, ky’akola akitegeera bulungi nga era y’atnadise dda okukwasanga emisango egyekuusa ku nkaayana z’ettaka.

Mbabaali mu kulonda okuwedde y’avuganya n’amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi mu Bukoto Central wabula nebamumegga.

Mbabali kunono avuganya ne munna NRM Joseph Kalungi nga ayagala kisanja kyakubiri wamu ne Matia Kagugube eyesimbyewo ku lulwe.