Amawulire

Nambooze atabuse

Ali Mivule

January 19th, 2016

No comments

Abavuganya gavumenti e Mukono balumbye poliisi olw’okubaamu kyekubiira ng’ekola emirimu gyaayo
Bano abakulembeddwaamu omubaka Betty Nambooze n’ayagala obwa meeya George Kagimu bagamba nti abawagizi baabwe bangi bakwatiddwa n’okukubwa mu bukyaamu
Nambooze agambye nti kati basazeewo kujeema kubanga nebwebagonda tekikola
Nambooze agamba nti ensonga bazitegeezezzaako ab’akakiiko akalondesa kyokka nga tewali kikoleddwa
Kyokka akulira akakiiko akalondesa e Mukono yavaayo n’ategeeza nti Nambooze akwata kisooka mu kumenya amateeka.