Amawulire

Abasomesa tebaggya kujula ku mulembe gwange-Besigye

Ali Mivule

January 19th, 2016

No comments

Akutte bendera ya FDC ku kifo ky’omukulembeze w’eggwanga Dr. Kizza Besigye azzeemu okusuubiza okwongeza abasomesa omusaala ssinga amala n’alya obuyinza.

Ng’ayogerako eri abantu e malaba, Besigye agambye nti gavumenti ye era yakufuba okulaba nti embeera abasomesa mwebakolera erongoosebwa basobole okusomesa obulungi.

Besigye agamba nti  ku mulembe gwe, omusomesa wa pulayimale wakufuna emitwalo 60 ate aba siniya bafune akakadde kamu.

Ono agamba nti bannayuganda tebali bubi kubanga eggwanga lyaabwe lyaavu wabula omululu, okweyaliza n’obutafa ku bantu byebizadde ebizibu.

Asuubiza okulaba nti embeera etereera mu kutambuza ebintu ebiyingira eggwanga olwo buli omu afunemu