Amawulire

Katuntu azze wa Besigye

Ali Mivule

January 18th, 2016

No comments

Omubaka wa Bugweri county Abdul Katuntu asazewo okukuba enkyukira neyegatta ku akwatidde ekibiina kya FDC bendera Dr Kiiza Besigye oluvanyuma lw’okumukolokota bukyanga bava mu kamyufu omwaka oguwedde.

Katuntu asabye abalonzi okuwagira abantu abatakyukakyuka mu byebogera nebyebakola.

 

Nga ali mu mmotoka ya Besigye avuga, Katuntu ategezezza nga Besigye bw’alemedde ku nsonga y’okuleetawo enkyukakyuka kale nga omuntu nga ono asaanye okuwagirwa.

 

Besigye asuubirwa okukuba enkungaana e  Nawandala oluvanyuma ayolekere e kiwani.

Oluvanyuma wakudda e Namungarwe  ,Bukona ,Busembatya ,Idudi ,makuutu and Nakyigo .

Olukungaanalwe olukulu wakulukuba e Iganga ku ssaza ku ssaawa 11 ez’olweggulo.