Amawulire

Ogwa Aine gwa mwezi guno

Ogwa Aine gwa mwezi guno

Ali Mivule

January 12th, 2016

No comments

File Photo:Ainne nga lwanagana ne polici

File Photo:Ainne nga lwanagana ne polici

Kkooti etaddewo olunaku 27th omwezi guno okutandika okuwulirirako okusaba okwakolebwa b’enganda za Christopher Aine eyabuzibwaawo omwaka oguwedde.

Aine nga yeeyali akulira ba kanyama ba Mbabazi yabuzibwaawo nga kati abenganda ze bagaala poliisi emuleete nga mulamu oba nga mufu

Omulamuzi ali mu mitambo gy’omusango guno Lydia Mugamba y’alangiridde ennaku z’okuwulirako omusango.

Kizibwe wa Aine Ezra Kabugo agamba nti baakoma okuwulira ebifa ku Muntu wabwe wa 14th omwezi oguwedde bweyabakubira n’abategeeza nti aba poliisi bazinze amaka ge e Kyanja

Yadde bano balumiriza poliisi okukwata abantu baayo, yegaana dda bino byonna nti nayo enoonya Aine