Amawulire

Asobezza ku muwala we

Asobezza ku muwala we

Ali Mivule

January 11th, 2016

No comments

File Photo: Police nga ekola ogwayo

File Photo: Police nga ekola ogwayo

Poliisi ye Buwama eriko omusajja ow’emyaka 30 gw’ekutte lwakusobya ku muwala we ow’emyaka 8.

Vincent Ssentongo nga mutuuze ku kyalo  Bugoma mu bizinga bye Bunjakko yakwatiddwa mu disitulikiti ye Mpigi.

Akola ku kunonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi ye Buwama Harriet Nakyambadde agamba ono wakuggulwako gwa buliisa maanyi singa banakizuula ndi ddala yafuuse namunswa.

Muliraanwa ategerekese nga maama Paatu alumiriza nti omusajja ono bukyanga baawukana ne mukyala we emyezi 3 emabega  afutubbala ku kawala kano okwemalako ejjakirizi.