Amawulire

Aba NRM banyonyodde ku kukubaganya  ebirowoozo

Aba NRM banyonyodde ku kukubaganya ebirowoozo

Ali Mivule

January 11th, 2016

No comments

File Photo: Museveni ,Mbabazi ne Besigye

File Photo: Museveni ,Mbabazi ne Besigye

Ab’ekibiina kya NRM bazzeemu okukinogaanya nti omuntu waabwe ssiwakuyimiriza nteekateeka ze ez’okuwenja kalulu mbu yetaba mu kukubaganya birowoozo okutegekeddwa eri abo abagaala okukulembera eggwanga lyattu.

Omwogezi w’ekibinja ekinoonyeza pulezidenti Museveni akalulu Mike Sebalu agamba nti akakodyo kaabwe mu kuwenja akalulu kutuukirira bantu era nga kino kyebajja okusigalako

Sebalu agamba nti ku lw’okutaano luno okukubaganya ebirowoozo lwekutegekeddwa, Museveni alina kubeera mu kitundu kye Igara mu disitulikiti ye Bushenyi nga tayinza kusazaamu.

Sebalu agamba nti abesimbyeewo abalala ba ddembe okwetaba mu kukubaganya ebirowoozo kuno naye nga bbo tebajja kubaawo.

Bbo bannakyeewa bagamba nti ekya Pulezidenti Museveni okuzira okukubaganya ebirowoozo ne Besigye n’agoberera kabonero nti okulonda kuno kwandibaamu akavuyo

Besigye yategeezezza nga bw’atasobola kwetaba mu kukubaganya birowooza nga pulezidenti Museveni taliiwo kubanga kuba kumala budde

Kati atwala ekibiina kya DENIVA Uganda Justus Rugamba agamba nti kiswaza okulaba nti abakulembeze tebagaala kugasimbagana