Amawulire

Okutiisatiisa bannamawulire kususse- Alipoota

Okutiisatiisa bannamawulire kususse- Alipoota

Ali Mivule

January 11th, 2016

No comments

File Photo:Police nga egooba Munamawulire

File Photo:Police nga egooba Munamawulire

Alipoota empya okuva mu kibiina ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya Human Rights Watch eraze nga gavumenti n’ekibiina ekiri mu buyinza bwebatiisatiisa bannamawulire n’abalwanirira eddembe ly’obuntu okukendeeza ku babakolokota.

Alipoota eno ey’empapula 48 eraze nga bannayuganda bangi bwebatamanyi nyo bikwata ku byakulonda nga era bannamawulire bakkirizibwa kukwatako bitono ebigenda mu maaso mu by’okulonda sso nga gavumenti ezze yekiika mu pulogulamu z’ebyobufuzi ku malediyo ne TV.

Ssabanonyereza mu kibiina kino Maria Burnett  agamba singa embeera egenda bweti okulonda tekusobola kubeera kwa mazima na bwenkanya.

Alipoota eno eraze nga bannamawulire bangi bwebatulugunyizibwa nga n’abamu babalalika okugobwa ku mirimu singa balemera ku ky’okukwata amawulire ga kampeyini.

Nga tebanavaayo na alipoota eno , bannamawulire 170 babuziddwa ebibuuzo ebyenjawulo, ab’ebibiina by’obwanakyewa, ab’ebibiina by’obwanakyewa wamu n’abakungu ba gavumenti ab’enjawulo abaabadde basobola okubaako nekyebaagala.

Alipoota eno  era esabye bannamawulire baweebwe ekyanya wamu n’ebibiina byobwanakyewa okukola ogwabwe ogw’okusomesa abantu ku bikwata ku kulonda.