Amawulire
Abaasobya ku mukyala bakwatiddwa.
Bya Abubaker Kirunda. E Bugiri police ekutte abasajja 2 nga bano bavunibwa gwakusobya ku mukyala. Abakwatiddwa bonna batuuze be Kasokwe mu gombolola ye Lwemba e Bugiri, nga bano kigambibwa okuba nga bazze kumukyala ono nebamusobyako mubudde obw’ekiro Ayogerera police ya East James Mubi akakasiza okukwatibwa […]
Ssabapolisi wa kenya kooti emwetaaga.
Bya ssebuliba samuel Mu Kenya :ssabapolice we gwanga lino Joseph Boinnet kko n’akulira okunonyereza kubuzzi bw’emisango George Kinoti bayitiddwa mu kooti enkulu eya Kenya, banyonyole lwaki bakyaganye okuyimbula munamateeka wa NASA Miguna Miguna. Omulamuzi wa kooti eno Luka Kimaru olunaku olw’eggulo yalagidde abakulu bano okuyimbula […]
Police eyagala etandike okuweebwa ku katiibwa
Bya Ritah Kemigisa. Police esabye abantu baabulijjo okutandika okuteeka ekitiibwa mu baserikale , kubanga bakolera mubugubi, kyoka nebeewayo okutuukiriza emirimo gyabwe. Twogedeko n’ayogerera police ye gwanga Emilian Kayima, n’agamba nti abaserikale bano baweebwa obusimbi bwamunyoto, basula bubi, eby’empuliziganya bikyabulamu, kale nga buli kyebakola gwonna […]
Muhamad Kirumira akomawo mu kooti
Bya samuel ssebuliba. Tutegeezeddwa nga eyaliko omuduumizi wa police ye Buyende Muhammad Kirumira bwakomezebwewo leero mu kooti ya police ebitebye. Kinajukirwa nti ku lw’okuna lwa sabiiti ewedde kirumira yakwatibwa nga Mwanga okugibwa mu makaage, navunanibwa emisango egy’okulya enguzi, okutulugunya, kko n’okusiiwuka empisa. Ono oluvanyuma […]
Bakanyama bagwana kutekebwa mu bibiina
Bya Damali Mukhaye Ekibiina ekigatta abategesi b’ebivvulu ekya Uganda Music promoters and Venue Owners Network kyagala wabeewo okuwandisibwa kw’abantu abamanyidwa nga BAKANYAMA abakola omulimu gwo’okukuuma ebifo bino okusobola okulondoola obulungi omulimu gwabwe. Kino kigidde mu kaseera nga omuvubuka ateberezebwa okubeeraKanyama yakatta omuyimbi mowzey Radio Tonny […]
Banamagye abagenda okuzimba leerwe bamaze okutendekebwa.
Bya Kyeyune Moses. Amagye ga UPDF agagenda okukola omulimo gwokuzimba oluguudo lwegaali y’omuka gagadde gategeezeza nga bwegagenda okukoze ekitongole kyago ekya National Enterprise Corporation okutendeka ba Engineer bonna abagenda okukola omulimo guno. Bino byogeddwa akulira ekitongile kino Maj Gen James Mugira, bwabadde ayaniriziza banamagye ba […]
Banyini masomero ag’obwananyini sibasanyufu
Bya samuel Sebuliba. Banyini masomero ag’obwananyini balaze obw’enyamivu olwa government okwefunyirira ku ky’okuggala amasomero geegamba nti tegaweza bisaanyizo. Kinajukirwa nti ministry eno ekedde kutegeeza nga bwegenda okugala amasomero agawerako nga egalanga kulemwa kutuukiriza bisanyizo. Kati bano nga bayita mu kibiina kyabwe ekibagatta ekya Federation […]
Abe Abim eddagala lya mukenenya baliwa mbizzi
Bya Steven Ariong Abatuuze abalunda embizzi mu district ye Abim mu bitundu bye Karamoja kikakasiddwa nti bakira eddagala eriwerweeza ku kawuka ka mukenenya, okuliwa ebisolo babwe. kino kibotoddwa oluvanyuma lwokunonyereza okumala wiiki namba okwakoleddwa aba Daily Monitor mu magombolola okuli Morulem, Awac, Otukei ne Alerek. Joicy […]
FDC ewakanyizza ebyokuggala amsomero
Bya Damalie Mukhaye Abavuganya gavumenti mu kibiina kya FDC, bawkanayizza ekyokuggala amsomero, agatalina bisanyizo nagalina license. Gavumenti yalangiridde nti amasomero omutwalo 1 mu 3,000 agaggalwa ssi gakutandika kubanga abasing tebalina bisanyizo bisokerwako. Bwabadde ayogera ne banamwulire ku wofiisi zekibiina e Najjanakumbi, omwogezi wa FDC Ibrahim […]
Asse Mukyala we naye neyetta
Bya Malikh Fahad Entiisa ebutikidde abe Kimanya mu district ye Masaka, mutuuze munaabwe bwakidde mukyala we namutta naye neyetuga. Bino bibadde ku kyalo Kitabazi mu division ye Kimanya Kyabakuza. Emmanuel Kavuma yakidde mukyala we Frolence Nalubega namutta, bwabadde tanaba naye kwejja mu bulamu. Okusinziira ku […]