Amawulire

Ssabapolisi wa kenya kooti emwetaaga.

Ivan Ssenabulya

February 6th, 2018

No comments

Bya ssebuliba samuel

Mu Kenya :ssabapolice we gwanga lino Joseph Boinnet kko n’akulira okunonyereza kubuzzi bw’emisango George Kinoti bayitiddwa mu  kooti enkulu eya Kenya, banyonyole lwaki bakyaganye okuyimbula munamateeka wa NASA  Miguna Miguna.

Omulamuzi wa kooti eno Luka Kimaru  olunaku olw’eggulo yalagidde abakulu bano okuyimbula mu bwangu omukulu ono gwebaakwata ku lw’okutaano,  naateebwa ku kakalu ka kooti, kyoka police neegana okumuta.

Kati bano kooti ebayise  bajje mubintu, bategeeze  omulamuzi lwaki tebawa kooti kitiibwa

Kinajukirwa nti Munamateeka ono   Miguna yakwatibwa  ku lw’okutaano bweyavaayo nategeeza nga bweyakola nga omulamuzi mu kulayiza Raila odinga ku bwa president.