Amawulire
Police eyagala etandike okuweebwa ku katiibwa
Bya Ritah Kemigisa.
Police esabye abantu baabulijjo okutandika okuteeka ekitiibwa mu baserikale , kubanga bakolera mubugubi, kyoka nebeewayo okutuukiriza emirimo gyabwe.
Twogedeko n’ayogerera police ye gwanga Emilian Kayima, n’agamba nti abaserikale bano baweebwa obusimbi bwamunyoto, basula bubi, eby’empuliziganya bikyabulamu, kale nga buli kyebakola gwonna mwoyo gwa gwanga.
Ono agamba nti situgaanye police ekyabulamu , era esobya , naye buli kadde okukolokota tekikola makulu