Amawulire

Abe Abim eddagala lya mukenenya baliwa mbizzi

Ivan Ssenabulya

February 5th, 2018

No comments

Bya Steven Ariong

Abatuuze abalunda embizzi mu district ye Abim mu bitundu bye Karamoja kikakasiddwa nti bakira eddagala eriwerweeza ku kawuka ka mukenenya, okuliwa ebisolo babwe.

kino kibotoddwa oluvanyuma lwokunonyereza okumala wiiki namba okwakoleddwa aba Daily Monitor mu magombolola okuli Morulem, Awac, Otukei ne Alerek.

Joicy Akidi nga mulimi mu kitundu kye Alerek agambye nti eddagala lya ARVs ligezza emmbizzi mu myezi ebiri gyokka.
Bino abasing ku balunzi bategezezza nti babiyigira ku banaabwe mu district ye Lira.

wabula Dr. Oscar Okengo, akulira ebyebisolo mu district eno ategezeza nti babadde tebalina kyebamanyi ku nsonga eno.

okusinziira ku kitongole kyebyobulamu mu nsi yonna, eddagala lyakawuka ka mukenenya teritekeddwa kukozesebwa ku bantu era lyandivaamu ebizibu.