Amawulire

Muhamad Kirumira akomawo mu kooti

Ivan Ssenabulya

February 6th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

 

Tutegeezeddwa nga eyaliko omuduumizi wa police ye Buyende Muhammad Kirumira bwakomezebwewo leero mu kooti ya police ebitebye.

Kinajukirwa nti ku lw’okuna lwa sabiiti ewedde  kirumira yakwatibwa nga Mwanga okugibwa mu makaage, navunanibwa emisango egy’okulya enguzi, okutulugunya, kko n’okusiiwuka empisa.

Ono oluvanyuma lw’okusimbibwa mu kooti yasindikibwa ku Police wano e eya Railway ground, kyoka oluvanyuma nagibwayo natwalibwa Nalufenya nakaano gyakyali

Gyebuvudeko ekitongole ekikwasisa empisa mu police kyategeza nga ono bwagenda okugulibwako emisango emirara okuli egyokumenya amateeka ga police

Kati ono esaawa yonna wakuzibwa wano ku Naguru  mu kooti ya police abitebye.