Amawulire
Banamagye abagenda okuzimba leerwe bamaze okutendekebwa.
Bya Kyeyune Moses.
Amagye ga UPDF agagenda okukola omulimo gwokuzimba oluguudo lwegaali y’omuka gagadde gategeezeza nga bwegagenda okukoze ekitongole kyago ekya National Enterprise Corporation okutendeka ba Engineer bonna abagenda okukola omulimo guno.
Bino byogeddwa akulira ekitongile kino Maj Gen James Mugira, bwabadde ayaniriziza banamagye ba uganda abaade mukutendekebew mu gwanga elya China era nga guno omukolo guno gubadde wano e Mbuya.
Kinajukirwa nti abajaasi kumi bebasindikibwa okufuna obukugu mu gwa lya china mu tendekero elya Shijiazhuang Thedao University .
Kati bano abakomyeewo bebagenda okuyambako okutendeka banaabwe abataafuna mukisa.