Amawulire

Abaasobya ku mukyala bakwatiddwa.

Ivan Ssenabulya

February 6th, 2018

No comments

Bya Abubaker Kirunda.

E Bugiri police ekutte   abasajja 2 nga bano bavunibwa gwakusobya ku mukyala.

Abakwatiddwa bonna batuuze be Kasokwe mu gombolola ye  Lwemba e Bugiri, nga bano kigambibwa okuba nga bazze kumukyala ono nebamusobyako mubudde obw’ekiro

Ayogerera police ya  East  James Mubi akakasiza okukwatibwa kwabano nagamba nti akadde konna bagenda mu kooti babitebye.